Amawulire

Pulezidenti alagidde ku musujja gwa Marburg

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Ebola

Pulezidenti Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu eyanguwe mangu okusomesa bannayuganda ku musujja kattira ogwa Marburg.

Minisitule y’eby’obulamu y’alangiridde nga ekirwadde kino bwekyasse omuntu omu olunaku olw’eggulo nga omulala ateberezebwa okubeera nakyo  y’akebeddwa nga era ebyavuddeyo bisuubirwa okufulumizibwa olwaleero.

Pulezidenti era asabye abantu bonna okubeera bulindaala n’okwewala okukwata buli Muntu mungalo n’okweriranya buli gwebasanze.

Mungeri yeemu ssabaminisita w’eggwanga omujja  Dr. Ruhakana Rugunda agumizza bannyuganda nga eggwanga bwerilina obusobozi okwanganga ekirwadde kino nga era gavumenti yatemezza dda ku  ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna.

Rugunda agattako nti minisitule y’ebyobulamu ekyalondoola abantu bonna abaabadde n’omugezi n’abenganda  okukeberebwa oba tebakwatiddwa kirwadde kino.

Agamba bataddewo essimu okutegeeza ab’ebyobulamu singa wabaawo omuntu yenna eyekengerwa okubeera ne Marburg nga era eri.

0750-996-034

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *