Amawulire

Ekirwadde kya Marburg kitabuse- abalala munaana bandiba nakyo

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Ekirwadde ky’omusujja gwa Marburg kyongedde okutabuka ng’abantu 8 abasemberera eyafa ekirwadde kino nabo bafunye obubonero bw’ekirwadde kino. Minisitule y’eby’obulamu yasindise dda omusaayi gw’abantu bano okukeberebwa mu kitongole ekikebera endwadde enkambwe entebbe Ku 8 bano, 4 bava Mpigi, 2 Kasese n’abalala 2 okuva wano mu Kampala. […]

Kkooti enaawozesa Kenyatta yetegese

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Kkooti y’ensi yonna mu Kibuga Hague Omukulembeze w’eggwanga  lya Kenya Uhuru Kenyatta wakufuuka omukulembeze w’eggwanga asookedde ddala okulabikako mu kkooti y’ensi yonna mu kibuga Hague mu ggwanga lya Netherlands. Kkooti eno yakutwala ennaku bbiri nga etandika okuwulira omusango guno. Kenyatta avunaanibwa kutyoboola dembe lyabuntu mu […]

kasattiro mu spain lwa Ebola

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Spain kasattiro oluvanyuma lw’omusawo omu okukwatibwa ekirwadde ekyefananyirizaako ekya Ebola Omusawo ono oli mu ddwlairo ekkulu  mu Kibuga Madrid yali yajjanjaba abalambuzi babiri abaafa ekirwadde kyekimu Yye omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama alangiridde enteekateek y’okwekebejja abo bonna abayingira eggwanga ly’akulira Abantu […]

Omusajja atemyeko mukyala we omutwe lwa bwenzi

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

E Sembabule Lwemiyaga omusajja akkidde mukyala we n’amutemako omutwe ng’amulanga bwenzi. Julius Agaba kati aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okusanjaga kabiite we  Molley Kyalimpa. Kigambibwa nti ababiri bano baludde nga banenengana okutuusa ekiro ekikeesezza olwaleero Agaba bw’akomyewo ewaka n’akuba mukyala we nga amulumiriza obwenzi oluvanyuma n’amusalako […]

Paapa Francis afunye ebbaluwa emuyita

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Paapa Francis akkirizza okufuna ebbaluwa emusaba okukyalako mu Uganda mu mwaka ogujja Okusinziira ku kibiina ekigatta abakatolika, papa yamaze okuwandiikira pulezidenti Museveni ng’akakasa nti afunye ebbaluwa Paapa singa akkiriza ajja kuba akyaala mu Uganda okweaba ku mikolo gy’abajulizi e Namugongo omwaka ogujja Pope Francis yali […]

Obulwadde bwa Marburg- Gavumenti tetudde

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abantu abateberebezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg gwongedde okulinnya. Abalala 17 baawuddwa mu bantu abalala nga kati abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kino bali 97 Alondoola endwadde ezibalukawo mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Isa Makumbi agamba nti batandise n’okusomesa abasawo e Mengo ku ngeri gyebayinza okukwatamu abantu abalina ekirwadde […]

Omuyizi eyagobwa ku ssomero- bannakyeewa batabuse

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Ekyamangu kirina okukolebwa okubonereza abaagobye omuyizi olw’okubeera n’obulwadde bwa mukenenya Abalwanyisa obulwadde bwa Mukenenya bagamba nti ekikolwa ky’okugoba abalina obulwadde bwa mukenenya tekikkirizika era kirina okuvumirirwa Kino kiddiridde omuyizi ku ssomero lye Nalufenya Primary school e Pallisa okugobwa ku ssomero lwakubeera na siriimu. Akulira ekibiina […]

Essomero lya Philly

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

  Ab’enyumba y’omugenzi Philly Lutaaya batongozezza eddimu ly’okusonda ensimbi ez’okuzimba essomero erinasomesa n’okulabirira abayizi abalina obulwadde bwa Mukenenya Akulira ekibiina kya Philly Lutaaya foundation Tezra Lutaaya agamba nti essomero lino lyakuzimbibwa Gomba omugenzi gyeyazaaliba Agamba nti essomero eno lyakukolanga ku bavubuka  nga bisatu nebannamwandu ababonaboona […]

Ayiikudde entaana okufuna eddaame

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Omuwala abadde ayagala eddaame lya kitaawe eyafa asazeewo kuyiikuula malaalo Wabula ono by’asazeeyo bikimumazeeko ng’asaze mu ngalo za kitaawe mulimu paketi ya sigala Omuwala ono nno abadde aludde nga yekwasa banne nti kirabika bamutwalako ebintu n’okukyuusa mu ddaame

Omwana awasizza nyina

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Ebyempuna tebiggwa mu nsi eno Omuvubuka awasizza nyina omuto nga nekitaawe alaba Bano nno basoose kulemesebwa kubanga mu Bufaransa, obufumbo bw’omwana ne nyina tebukkirizibwa Wabula baddukira mu kkooti era n’ebakkiriza okufumbirwagana kyokka ng’ekyewunyisizza kwekulaba nga ne kitaawe yeetabye ku mikolo