Amawulire

Omusajja atemyeko mukyala we omutwe lwa bwenzi

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Man cuts off woman's head

E Sembabule Lwemiyaga omusajja akkidde mukyala we n’amutemako omutwe ng’amulanga bwenzi.

Julius Agaba kati aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okusanjaga kabiite we  Molley Kyalimpa.

Kigambibwa nti ababiri bano baludde nga banenengana okutuusa ekiro ekikeesezza olwaleero Agaba bw’akomyewo ewaka n’akuba mukyala we nga amulumiriza obwenzi oluvanyuma n’amusalako omutwe.

Abatuuze beebagudde ku mulambo gw’omugenzi oluvanyuma lw’okulaba omusaayi nga gukulukuta okuva mu nyumba y’abafumbo bano.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjogi ategezezza nga poliisi bw’etandise okuyigga omutemu ono nga era wakuggulwako gwa butemu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *