Amawulire

Kkooti enaawozesa Kenyatta yetegese

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Kenyatta at ICC

Kkooti y’ensi yonna mu Kibuga Hague Omukulembeze w’eggwanga  lya Kenya Uhuru Kenyatta wakufuuka omukulembeze w’eggwanga asookedde ddala okulabikako mu kkooti y’ensi yonna mu kibuga Hague mu ggwanga lya Netherlands.

Kkooti eno yakutwala ennaku bbiri nga etandika okuwulira omusango guno.

Kenyatta avunaanibwa kutyoboola dembe lyabuntu mu kitta bantu ekyaliwo mu mwaka 2007 omwafiira bannakenya abasoba mu 1000.

Bbo bannamateeka ba Kenyatta bagamba omusango guno temuli nsa kale nga gusaana kugobwa.

Kenyatta olunaku olw’eggulo yalangiridde ng’entebe bw’agikwasizza omumyuka we Ruto nga bw’agenda mu maaso n’okuwerennemba n’emisango egimuvunaanibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *