Amawulire

Ekirwadde kya Marburg kitabuse- abalala munaana bandiba nakyo

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Isolation camps

Ekirwadde ky’omusujja gwa Marburg kyongedde okutabuka ng’abantu 8 abasemberera eyafa ekirwadde kino nabo bafunye obubonero bw’ekirwadde kino.

Minisitule y’eby’obulamu yasindise dda omusaayi gw’abantu bano okukeberebwa mu kitongole ekikebera endwadde enkambwe entebbe

Ku 8 bano, 4 bava Mpigi, 2 Kasese n’abalala 2 okuva wano mu Kampala.

Enteekateeka z’okwaawula 8 bano ku bantu abalala zigenda mu maaso okwewala ekirwadde kino okwongera okusaasana.

Akulira emirimu  mu misinitule y’eby’obulamu  Dr. Alex Opio agamba akakiiko ak’enjawulo kakyagenda maaso n’okwekebejja abo bonna abaakwataganye n’eyakakasiddwa okuba n’ekirwadde kino.

Mu ngeri yeemu minisitule y’eby’obulamu yasindise dda ebikozesebwa okutangira ekirwadde kino ebiri eyo mu 300 mu ddwaliro ly’e Mpigi ne Mengo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *