Olwali
Ono eyoyoota mbaata
Kati ebiseera ebisinga abazungu balina omuze gw’okutambula nembwa, kale oba kappa. Mu kibuga London ekya Bungereza waliwo omusajja ye ebyembwa ssibyaliko, asazewo okukwata embataze 2 nazisibamu emigwa olwo nakaalakaala nazo mu kibuga wakati nga zimukuilembeddemu. Abantu abenjawulo bavudde ku byebakola olwo nebatunulira omusajja abadde atambula […]
Abawagira Mbabazi abalala bavuddeyo
Waliwo ekibinja kyabavubuka abawagira ssabaminista John Patrick Amama Mbabazi ekyetonzeewo mu kibiina kya NRM. Bano abeeyita aba NRM Poor Youth Forum bazinzeeko ekitebe kya NRM e kyadondo,nga bagamba nti bbo bawagizi ba Mbabazi. Agavaayo goolese nga bano bwebabadde bakyategeka olukungana lwaabwe, omubaka akiikirira abavubuka Evelyn […]
Ogwa Besigye tegugenze mu maaso
Okuwulira omusango ogwawaabwa eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye tekugenze mu maaso. Omulamuzi abadde alina okugukolako, Elizabeth Musoke talabiseeko Besigye yawaaba ng’;ayagala aba UBC bamuddize ensimbi zeyabasasula okumukubira obulango nga yesimbyeewo mu mwaka gwa 2011 nga kino kyabalema Ayagala bamusasule obukadde bwe 21 […]
Ababaka be minista bakubaganye empawa
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bavudde mu mbeera ng’okukubaganya ebirowoozo ku bawala abatundibwa mu ggwanga ya Iraq kugenda mu maaso. Omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara ne Teopista Ssentongo beebaleese ensonga eno nga bagamba nti abawala bangi bwebatuuka eyo batulugunyizibwa Wabula minista omubeezi akola ku nsonga z’abakozi […]
Poliisi yeezoobye n’abatuuze
Poliisi n’okutuusa kati ekyebulunguludde ewa Dinia mu Ndeeba oluvanyuma lw’abatuuze okutabukira bawanyondo ba kooti ababadde batandise okumeya amayumba gabwe agali ku ttaka erigambibwa okugulibwa kampuni y’ebizigo eya Movit. Poliisi ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula abatuuze bano ababadde bataamuse nga enjuki. […]
Aba Pakistan bawewuse- egy’obuliisa maanyi gibajjiddwakao
Omuwaabi wa gavumenti banansi b’eggwanga lya Pakistani babiri abajjeeko emisango gy’okukaka omuwala ow’emyaka 23 omukwano wabula nebagulwako gyabusiyazi. Bano babadde bavunanibwa kukakana ku muwala ono nebamukaka omukwano mu kirindi. Omulamuzi wa kooti ya City Hall Juliet Hatanga era omusango egusindise mu kooti ya Buganda Road […]
Kidandala yejjusa okusisinkana Kaihura
Amyuka loodimeeya Sulaiman Kidandala yejjusa okusisinkana senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura Ng’asisinkanye abakulembeze ku ludda oluvuganya, Kidandala agambye nti teyalina kigendererwa kyonna kibi kyokka nga yejjus aobutagambako mukama we Ng’ayogerako nebannamawulire oluvanyuma lw’olukiiko luno, Dr Kiiza Kiiza Besigye agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunonyereza […]
Akulira Cairo Bank ayitiddwa bukubirire
Kooti ewozesa abakenuzi efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye eli akulira banaka ya Cairo International Bank Mohamed Tarek oluvanyuma lwokulemererwa okweyanjula mu kooti okwewozaako ku misango gyokubulankaya ssente z’akasiimo eziri eyo mu buwumbi 165 n’abamu ku bakungu okuva mu ministry y’abakozi. Munnamateekawe Macdusman Kabega ategezezza kooti nga […]
Abayizi abawolebwa ensimbi batono
Minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ayagala olukiiko olukola ku kuwola abayizi ssente z’okusoma lwongeze ku bayingizibwa abayingizibwa mu nkola eno mu matendekero agawagulu. Kati abayizi 5.7 bebokuganyulwa mu nteekateka eno nga ye ayagala batuuke ku bitundu 50%. Alupo agamba olukiiko luno lulina okufuba okulaba nga waliwo […]
Pulezidenti Museveni alumbye ab’ebibira
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni anenyezza nyo ab’ekitongole ky’ebibira mu ggwanga obutafaayo nga ebibira bitemebwa bigwaAwo. Bwabadde atongoza okusimba emiti ku luguudo lwa Northern bypass, Museveni ategezezza nga abakulira ekitongole kino bwebasazewo kutuula mu ofiisi nga eno ebibira bitemwa bigwawo. Museveni agamba nti buvunanyizibwa bwa kitongole […]