Amawulire

Abayizi abawolebwa ensimbi batono

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Alupo in class

Minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ayagala olukiiko olukola ku kuwola abayizi ssente z’okusoma lwongeze ku bayingizibwa abayingizibwa mu nkola eno mu matendekero agawagulu.

Kati abayizi 5.7 bebokuganyulwa mu nteekateka eno nga ye ayagala batuuke ku bitundu 50%.

Alupo agamba olukiiko luno lulina okufuba okulaba nga waliwo obulambulukufu mu kuwola ssente zino abaana babanaku basobole okuganyulwamu.

Agamba olukiiko lwakusooka n’obuwumbi 4 nga entandikwa. Olukiiko luno olw’abantu 8 lukulembeddwamu Father Callisto Lucheng.