Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri kikyaali kizibu
Gavumenti eweereddwa amagezi okutendeka ab’obukiiko bwekyalo ab’ebyobulamu abajja okutendeka abalala engeri y’okulwanyisamu omusujja gw’ensiri n’okugwewalamu. Okusinziira ku Doctor Rose Katushabe owa Miracle clinic e Wandegeya, abantu banji n’okusingira ddala ababeera mu bifo by’enzigotta tebamanyi mugaso gw’okusula mu butimba bw’ensiri kale nga banji bafudde. Katushabe agamba […]
Tonyooma bakulembeze ba bantu- Besigye
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akolokose pulezidenti Museveni olw’ebigambo byeyayogedde ebirengezza ab’oludda oluvuganya gavumenti , ng’abanenya nti bebaviiriddeko ekibuga kampala obutakulakulana. Besigye agamba ebigambo bino binyomoola abakulembeze abalondeebwa abantu, nga era ayagala palamenti etunule mu nsonga eno kubanga tekikirizika mukulembeze w’eggwanga okweyisa […]
Owa Vipers alinnye amadaala
Omuzanyi wa Cranes ne Vipers fc Yunus Sentamu, wakuwandiisibwa mu kibiina ekikulembera omuzanyo gwomupiira mu Africa ekya CAF week eno okusobola okuzanyira team ye empya eya AS Vita Club eya Democratic Republic of Congo. Omuwandiisi wa club gyabadde azanyira wano mugwanga Haruna Kyobe bwabadde yakakomawo […]
Ente Ntono Ezisaliddwa Ku Paasika
Ente ezisoba mu 1000 zesakalalibwa mu lufula ezenjawulo wano mu kampala ku lunaku lwa Easter . Omwogezi wa Lufula esinga obunene mu kampala Wilberforce Mutesasira agamba kuluno ente zibadde ntono ezisaliddwa bwogeregeranya ku paasika eziyise. Agamba kino kivudde ku kyeeya ekimaze ebbanga eddene nga […]
Ssabalabirizi Akunze Abakulembeze ba Africa
Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda , Rev. Stanley Ntagali asabye amawanga ga Africa okwanguwa okuyingira mu nsonga z’eggwanga lya South Sudan awali obutabanguko mu kiseera kino. Kino kiddiridde okulwanagana okuddamu mu ggwanga lino nga abayekera kati beddizza ekibuga Bentiu ewasimwa amafuta. Mu bubakabwe […]
Temunywa nemuvuga
Poliisi erabudde abantu okwewala okunywa omwenge ate nebavuga. Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agambye nti poliisi egenda kusuula emisanvu ku nguudo zonna, okukwata abanywa nga bavuga. Kaweesi agambye nti polisi egenda kusinga kukolera ku nguudo omuli olwe Ntebbe, Jinja road, Masaka […]
Omubaka William Oketcho afudde
Omubaka eyali akiikirira abantu be West Budama North afudde William Oketch yafudde mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero Mutabani w’omugenzi Val Oketcho agambye nti kitaawe yafudde akawungeezi g’eggulo mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lw’okusanyalala. Omugenzi abadde ssentebe w”ekitongole ky’amazzi ekya National water and sewerage ate […]
Ssabasajja ayagalizza abantu be paasika ennungi
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ayagalizza bannayuganda amazuukira ga yezu kulistu amalungi mu bubaka bwe bw’awereeza. Kabaka agamba nti singa yesu teyazuukira kuva mu bafu kugenda mu ggulu tewandibaddewo ssuubi. Mu bubaka bwe, kabaka ategezeza nti eggwanga lirina okwebaza mukama katonda olw’obutebenkevu. Ayongeddeko nti abakkiriza basaanidde […]
Loodimeeya ayise omumyuka we abitebye
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayise omumyukawe Sulaiman Kidandala abitebye ku bigambibwa nti yasaba ekyoja mumiro okuva eri ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura ajje Lukwago mu ntebe. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, Lukwago ategezezza nga bwekyamulumye okuwulira amawulire gano era yawulidde […]
Bulange Plaza y’eddako- Katikkiro
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda ng’omulimu gwokuzimba ekizimbe kya Bulange plaza bwegudenda okutandika era gumalirizibwa ng’omwezi gw’omusanvu omwaka gwa 2015 tegunayitta. Katikiro okwogera bino abadde mu Bulange Mengo mu kusonda ensimbi z’okuzimba amasiro ge Kasubi era ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 11 n’ensawo […]