Amawulire

Loodimeeya ayise omumyuka we abitebye

Ali Mivule

April 18th, 2014

No comments

Lukwago addresse media at home

Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayise omumyukawe Sulaiman Kidandala abitebye ku bigambibwa nti yasaba ekyoja mumiro okuva eri ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura  ajje Lukwago mu ntebe.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, Lukwago ategezezza nga bwekyamulumye okuwulira amawulire gano era yawulidde nga aliriddwamu olukwe.

Agamba gavumenti nayo yeetaga okuwa oludda lwayo kubanga abakungu baayo nabo baali mu katambi akagambibwa nti kwaliko eddoboozi lya Kidandala nga asaba enguzi okuvunika Lukwago.

Olunaku olw’egulo kidandala bino byonna yabyeganye bweyategezezza nga ensisisnkano gyeyalimu ne Kaihura bweyali ey’okukubaganya ebirowoozo ku mbeera eri ku city hall nga mpaawo nguzi gyeyasaba nti era n’amaloboozi gonna gajingirirwa.

Mu katambi k’amaloboozi gano Kidandala wamu n’omusajja omulala atanategerekeka bawulirwa nga boogera ku mbeera eri ku kitebe kya Kampala ekya City hall, olwo omusajja atanategerekeka nasaba ensimbi nti  ayambe okulongoosa embeera ku city hall.