Amawulire

Bulange Plaza y’eddako- Katikkiro

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Katikkiro news

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda ng’omulimu gwokuzimba ekizimbe kya Bulange  plaza  bwegudenda okutandika era gumalirizibwa ng’omwezi gw’omusanvu omwaka gwa 2015 tegunayitta.

Katikiro okwogera bino abadde mu Bulange Mengo mu kusonda ensimbi z’okuzimba amasiro ge Kasubi era ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 11 n’ensawo za Cement 300 zezisondeddwa.

Mayiga agambye nti Kati esimbi ezigenda okusondebwa zona zakuzimba ekizimbe kya Bulange Bulange plaza.

Katikiro era atongezeza akakiiko akagenda okuzimba ekizimbe kino ngakakulemberwa Hajji Mutaasa Kafeero.