Amawulire

Ssabalabirizi Akunze Abakulembeze ba Africa

Ali Mivule

April 20th, 2014

No comments

 

Ntagali

 

Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda , Rev. Stanley Ntagali  asabye amawanga ga Africa okwanguwa okuyingira mu nsonga z’eggwanga lya South Sudan awali obutabanguko mu kiseera kino.

Kino kiddiridde okulwanagana okuddamu mu ggwanga lino  nga abayekera kati beddizza ekibuga Bentiu ewasimwa amafuta.

 

Mu bubakabwe obwa Easter  wali ku kanisa ya All Saints e Nakasero, Ntagali agambye nti gyebuvuddeko amawanga mangi gabaddemu obutabanguko nga kino kitataganyizza nyo emirembe mu nsi yonna, nga kale abakulembeze bonna basaanye okwekumakuma baleetewo emirembe munsi.

 

Ono era asabye bannayuganda okujumbira okwewandiia okufuna endaga Muntu okwatandise ku balaza ya wiiki eno.