Amawulire
Omukka ogubalagala ewa Kisekka
Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi abakoolera mu buyumba okuliraana akatale ke wa Kisekka Kiddiridde abasuubuzi okwambalagana n’abasirikale ba KCCA ababadde bagenze okubasengula. Emirimu gisanyaladde ng’amaduuka maggale okwo kw’ossa n’ebyentambula okwesiba
Moyes agobeddwa
David Moyes agobeddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Manchester United. Ono abadde yakamala emyezi kkumi gyokka ku butendesi buno oluvanyuma lw’okudda mu bigere ebya Sir Alex Ferguson enzaalwa eye Scotland. Feruguson yalonda munnansi munne okumuddira mu bigere oluvanyuma lw’okuwummula obutendesi omwaka oguwedde bweyali amazeeko emyaka […]
Mu South Sudan ekitta bantu kitandise
Ebikumi n’ebikumi by’abantu battiddwa mu ttemu erigendereddwaamu amawanga agamu mu ggwnaga lya South Sudan. Kino kibaddewo ng’abayeekera bezza ekitundu kye Bentui nga kino kikubyeeko amafuta Okusinziira ku kiwandiiko okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte, abattiddwa basangiddwa mu muzikiti, mu makanisa ne mu malwaliro Mu ngeri yeemu […]
Abawambibwa mu Nigeria batolose
Abawala musanvu kw’abo 85 abawambibwa okuva ku ssomero badduse Omuwala omu y’abadde yakasobola okudduka bukyanga kino kibaawo nga kati abawala 77 beebakyaali mu buwambe Abawala 130 beebawambibwa kuva ku ssomero abasajja abaali babakanye n’emmundu bwebalumba abawala bano ku lunaku lwa bbalaza oluwedde Ab’akabinja ka Boko […]
Kokoolo w’olususu yeeyongedde
Obulwadde bwa kokoolo w’olususu bwongedde okutabukira abali e Bunmgereza nga bwekubisizzaamu emirundu etaao mu myaka 40 egiyise Abantu omutwaalo gumu mu enkumi ssatu beebalina obulwadde buno okuva ku bantu lukumi mu lunaana ababulna mu myaka gy’esanvu Abamu bagamba nti kino kivudde ku bantu okumanya ebisingawo […]
SIteegi za Bodaboda ziwedde
Kampala capital city yakulangirira siteegi za bodaboda ezayiseemu ssabiiti ejja. Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju agamba nti mu ngeri yeemu n’amateeka aganatwaala abagoba bano gakufuluma Kawujju agamba nti ekigendererwa mu kino kutegeka ba bodaboda bano era nga kino kyakubawo nga 28 omwezi guno Omwaka oguwedde, […]
omusawo wa Vipers FC aziikibwa nkya
Omuwandiisi wa team ya Vipers Fc eyayitibwanga Bunamwaya Haruna Kyobe, ategezezza nga bwebakola ekisoboka okulaba nga baleeta omulambo gwabadde omusawo wa team eno eyafiride mukabenje mu district ye Adjumani olunaku lweggulo. John Senkumba era nga ye manager womuyimbi Young Mulo yafiride mukabenje motoka gyeyabademu bweyamulemeredde […]
Abaana bana basirikkidde mu muliro
Poliisi e Nakaseke eri ku muyiggo gw’omusajja akolezezza nyumba n’atta abaana bana. Omusajja ono kalibutemu alumbye omukyala Juliet Namugerwa n’ekigendererwa ky’okunyagulula kyokka ng’omukyala yemuludde n’adduka. Omusajja ono olulabye bw’ati n’ayokya enyumba era nga takomye awo n’agoba omukyala okukkakkana ng’amutuusizzaako obulabe n’abaana be abalala basatu Ayogerera […]
Abatunda amata mu bipipa beekalakaasizza
Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi. Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga. Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba […]
Obutale obulala musanvu bujja
Ekitongole kya kampala capital city authority kimalirizza enteekateeka z’okuzimba obutale 7 obw’omulembe mu division za Kampala etaano nga era bwakubeera ku mutindo gwakatale ke Wandegeya.. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba omulimu guno kwakuwemmenta obuwumbi 250 nga era abasuubuzi abasoba mu mitwalo 2 bakufuna webakolera. […]