Ebyemizannyo

Moyes agobeddwa

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Moyes

David Moyes agobeddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Manchester United.

Ono abadde yakamala emyezi kkumi gyokka ku butendesi buno oluvanyuma lw’okudda mu bigere ebya Sir Alex Ferguson enzaalwa eye Scotland.

Feruguson yalonda munnansi munne okumuddira mu bigere oluvanyuma lw’okuwummula obutendesi omwaka oguwedde  bweyali amazeeko emyaka 26.

Kati Ryan Giggs omuzanyi ate nga mutendesi yasuubirwa okubeera mu mitambo gya tiimu eno ku mupiira wakati wa Manchester United ne Norwich.