Ebyobulamu

Waliwo omwana afa buli sekonda 30- Musujja gwansiri

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Olunaku lwaleero lwa musujja gwansiri Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte okujjukiza abantu nti omusujja guno gwamaanyi era buli omu asaanye okukwatira waali okulwanyisa obulwadde buno Mu nsi yonna abantu obuwumbi busatu beebali mu bulabe bw’okufuna omusujja gw’ensiri ate nga bbo abaweza akakadde beebafa omusujja […]

Amata amabisi galwaaza

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Amata kikulu nnyo eri obulamu bw’omuntu naye obadde okimanyi nti gano ate gayinz aokufuuka kanaluzaala Amata agatali mafumbeko geegasinga okuba ag’obulabe nga gano galwaaliza ddala. Dr Charles Kasozi okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti endwadde omuli ey’okuzimba omubiri, omusujja gw’omubyenda, ekiddukano n’endwadde endala nyingi […]

Omujjuzo ku bulwaaliro bwa KCCA gususse

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abalwadde abaddukira mu bulwaliro bwa KCCA okufuna obujjanjabi guyitiridde obungi Ekyewunyisa nti bangi ku bano tebava na mu kampala. Akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi agamba nti kino kikosezza emirimu gyaabwe naddala bwegutuuka ku ddagala kubanga liggwaawo mu kiseera kyebaba tebetegekera Musisi wabula agamba […]

Aba UMEME babatutte entyaagi

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze abakubye abakozi ba Umeme ababadde bagezako okuwanulayo tulansifooma  yaabwe. Bino bibadde mu gombolola ye Kasambya mu district ye Mubende abatuuze bwebakubye abakozi bano n’emmotoka y’omubaka waabwe Patrick Mulindwa abadde azze okubawooyawooya . Bano bagamba bamaze ebbanga […]

Emmundu egikweese mu mbugo

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Mu Amerika waliwo omuwala akoze ekitakoleka. Ono yabbye emmundu n’agikweka e buziba. Oluvanyuma lw’okuzza emisango egy’enjawulo omuwala ono ategerekese nga Archer yatwaliddwa mu kkomera asibwe. Wabula abakuuma ekkomera bwebabadde bamwaza bagenze okuwulira nga balinga abakwata ku kintu ekikaluba mu sikaati. Ono bamututte emanju era bagenze […]

Embalirira ya KCCA ejulidde

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

  Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti bongezezzayo okuteesa ku mbalirira y’ekitongole kya KCCA. Kiddiridde  akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okulabikako maaso g’akakiiko kano awatali ba meeya ba zi division etaano ezikola  kampala. Ababaka okuli Latif Ssebaggala bagamba nti abakulembeze ba […]

Ensimbi z’okusomesa abayizi ssi zabwereere

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza ekalambidde nti ensimbi ezigenda okuwolebwa  abayizi okweyongerayo okusoma ssizabwerere. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yatongozza enkola eno olunaku olw’egulo yatandise enkola eno n’ekigendererwa eky’okuyamba abaana abava mu maka amankusere okweyongeraro okusoma mu matendekero agawagulu. Wansi w’enkola eno eno abayizi bakusasula ssente zino mu mwaka […]

Bawanyondo basenze obuyumba mu kisenyi

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

  Emirimu gisanyaladde mu kisenyi oluvanyuma lwabawanyondo bakooti okukeera okumenya obuyumba bwonna obwazimbibwa kumpi n’oluguudo mu kitundu kino. Kino kiddiridde omusango ogwawaabwa omusuubuzi John Bosco muwonge olwo kooti neragira obuyumba buno bumenyebwe. Twogeddeko n’omu ku bawanyondo bano nategeeza nga buli awakanya kino bwali ow’eddembe okugenda […]

Lunaku lwa musujja gwa nsiri

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusujja gw’ensiri, minisitule y’ebyobulamu efunvubidde okulwanyisa omusujja guno okugumala mu ggwanga. Omwogezi wa ministry eno  Rukia Nakamatte agamba oluvanyuma lw’okumaliriza okugaba obutimba bw’ensiri okwetolola eggwanga, kati bakubaga entekateka endala akana ne kawefube omulala okulwanyisa obulwadde buno.  okusinziira […]

Empaka za pool zitongozeddwa

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

Empaka z’omuzannyo gwa pool table eza National Open zitongozeddwa olunaku lwa leero mu kampala. Empaka z’omwaka guno zakwetabwaamu abazanyi omutwalo gumu n’ekitundu okuva mu bitundu byegwanga amakumi anna nga zakutandika enaku ‘zomwezi 9th omwezi ogujja okutuuka nga 30th omwezi gw’omunaana. Company ya Nile breweries etaddemu […]