Amawulire

Abasibe be Luzira tebalina yunifoomu

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Abamu ku babaka ba palamenti baagala banabwe abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda batunule mu kizibu ky’abasibe obutaba na yunifoomu zimala. Omubaka omukyala owe Kaabong Rose Lilly Akello agamba ensimbi eziwerako zetagisa emirimu gy’ekitongole kyebyamakomera okutambula obulungi. Abakulira amakomera bagamba nti abasibe basobola kufuna peya ya yunifoomu […]

Okuyigga anadda mu bigere bya Fagil Mande kutandise

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Oluvanyuma lwa Fagil Mande okulekulira nga ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga, okunonya omusikawe kwatandise dda. Mandy yabigyemu enta oluvanyuma lwa presidenti Museveni okwongezaayo endagaano ya ssabawandiisi w’ekitongole kino Mathew Bukenya bwebabadde bagugulana. Kati minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba abakola ku kugaba emirimu mu kitongole kino […]

Nalongo azaalidde ku kkubo

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Abatuuze ku kyalo ekimu mu district ye Kasese basigadde bewunya oluvanyuma lw’omukyala ow’olubuto okuzalira abalongo ku kubo nga agenda mu ddwaliro lye kagando. Abeerabiddeko n’agabwe bategezezza nga omukadde abadde ali ku gage bwamuyambye okusindika abalongo bano oluvanyuma lwokumulaba nga takyasobola kutambula kilometer 4 ezibadde zisigaddeyo […]

Ogwa Besigye gugobeddwa- alya butaala

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Kkooti egobye omusango gw’okukuma omuliro mu bantu ogubadde guvunanibwa eyali ssenkagale wa FDC Dr. Kiiza Besigye  ne dereva we.  Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road  Araali Muhirwe ategezezza nga omusango guno bwegukandaliridde  enyo mu kooti awatali bajulizi baletebwa ludda luwaabi.  Oludda oluwaabi lugamba nti nga […]

Emmundu y’akasenya yiino

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Omuvubuka eyiiyizza emmundu ng’eno eriko akasenya Ekigendererwa kuyamba bajaasi buta ku mirimu nti basenya Omuvubuka ono agambye nti kino akikoze okuyamba abajaasi okukuuma obuyonjo ate nga tebavudde ku mirimu.

Omulamuzi eyeeyambula azzeemu okukola

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Bosnia omulamuzi eyasangibwa mu ofiisi ye ng’ali bute ayota musana azze ku mulimu Omulamuzi ono Enisa yasooka kubuukabuuka mu awo mu ngeri y’okukola exercise era olwa mala n’agalamira ku meeza ye okwota omusana ng’ali bute Ono nno abamulengera baali basajja abaali bayita […]

Micho mugumu- Cranes emalako

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

  Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Milutin ‘Micho’ Sedrojevich wakulangirira abazanyi Uganda begenda okukozessa mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morroco. Uganda yakuggulawo campaign negwanga lya Madagascar omwezi ogujja wakati wenaku zomwezi 16th ne 18th ,oluvanyuma badingane  mu weeks biri […]

Obutimba buwewa mmere ya nkoko

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

  Mu disitulikiti ye Lwengo ku kyaao kya Lwengo Rural, abaayo obutimba bw’ensiri babusiba ku biyumba bya nkoko SSentebe w’ekitundu kino Joseph Lubega bazonoona agamba nti ate abalala obutimba buno babukozesa kusengejja mmere ya nkoko Bazoonona agamba nti ekikwekweto ekigenda okuyoola abantu bonna abagwa mu […]

Cholera e Moyo- 4 beebakafa

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu ekakasizza nti obulwadde obutta abantu e Moyo cholera Mu ngeri yeemu era n’omuwendo gw’abafudde obulwadde buno gulinnye okuva ku basatu okudda ku bana . Abalala 64 baweereddwa ebitanda mu ddwaliro lya Obongi health center four Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte […]

Aba kampala bawagidde Museveni

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu massekati ga Kampala  basizza kimu nga nkuyege omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kwa bonna okwa 206. Kino kiddiridde ensisinkano y’okukubaganya ebirowoozo ebadde wali  ku kitebe kya Division mu kampala amakya ga leero. Ssentebe wa Division ya […]