Ebyemizannyo

Micho mugumu- Cranes emalako

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

 cranes in actions

Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Milutin ‘Micho’ Sedrojevich wakulangirira abazanyi Uganda begenda okukozessa mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morroco.

Uganda yakuggulawo campaign negwanga lya Madagascar omwezi ogujja wakati wenaku zomwezi 16th ne 18th ,oluvanyuma badingane  mu weeks biri e’Namboole.

Omuwanguzi ku team zombi,wakusisinkana anawangula ku Equatorial Guinea ne Mauritania nga ezebibinja tezinatandika.

Omwogezi wa Fufa Hussein Ahmed,ategezezza nga enteeka teeka yonna wamu nokutendekebwa kwa team bwekugenda okwanjulwa kulwokusatu ku Fufa house e’Mengo.