Amawulire

Abasibe be Luzira tebalina yunifoomu

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Luzira prison

Abamu ku babaka ba palamenti baagala banabwe abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda batunule mu kizibu ky’abasibe obutaba na yunifoomu zimala.

Omubaka omukyala owe Kaabong Rose Lilly Akello agamba ensimbi eziwerako zetagisa emirimu gy’ekitongole kyebyamakomera okutambula obulungi.

Abakulira amakomera bagamba nti abasibe basobola kufuna peya ya yunifoomu emu yokka mukifo ky’ebbiri kubanga ku kawumbi akasoba mu kamu kebalina okufuna, baweebwa obukadde 948 bwokka.

 Akello agamba abasibe bano obutaba na yunifoomu naddala mu makomera gomubyalo kyandiwa abasibe ekyanya okutoloka.