Ebyobulamu
Okulya ebivavava n’ebibala kiyamba
Okulya ebivavaava n’ebibala buli lunaku kiyamba omuntu okuwangaala Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bakyala n’abaamu emitwaalo mukaaga n’ekitundu. Mu ngeri yeemu ebivavava bino bikendeeza obulabe bw’omuntu okufuna kokoolo n’omutima Abasawo bamalirizza nga basaba abantu okwekubiriza okulya ebibala n’ebivavava
Amalwaliro gakuddabirizibwa
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga amaliriza okutegeka ettaka kw’egenda okuzimba amalwaliro omwenda mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo mu galiwo Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti omulimu guno gwtandika omwaka oguwedde era nga gwakumalawo obukadde bwa doola 59 Nakamatte agamba nti buli kimu bakikwasizza […]
Lukwago ajulidde
Loodimeeya Erias Lukwago essuubi alitadde mu kkooti eyokuntikko. Ono amaze okussaayo okujulira mu kkooti eno ng’ayagala esazeemu ebyasaliddwaawo okumujja mu ofiisi. Ayaagala n’ekiragiro ekimuwa ebbeetu okuddamu okukola emirimu gy’obwa meeya Mu ngeri yeemu era Loodimeeya ayagala akiragiro ekikoma ku kakiiko akalondesa okutegeka okulonda loodimeeya omuggya […]
Ababaka beekandazze
Ababaka aabamu beekandazze nebafuluma akakiiko akakola ku byokwerinda mu palamenti Kiddiridde akulira akakiiko kano Bena Namugwaanya okusuula ettayo eby’okuteesa ku by’okutulugunya abavuganya. Ababaka baabaadde bagaala minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga alabiseeko mu kakiiko kano okunyonyola lwaki poliisi etulugunya abavuganya Wabula omubaka Namugwanya agambye […]
Lukwago agenze mu kkooti y’okuntikko
Oluvanyuma lwa loodi meeya Lukwago okugobwa mu ofiisi gyeyamazemu essaawa entono , bannamateeka ba Lukwago basuubirwa okulabikako mu kooti ey’okuntikko nga bawakanya ekya kkooti ejulirwamu okugoba omuntu waabwe mu ofiisi . Olunaku olw’egulo omulamuzi Steven Kavuma yalagidde Lukwago ave mu ofiisi okutuusa nga okujulira kwa […]
Sukaali asse
Yadde nga okunabuuka kwa siringi kuleesewo okulinya kw’ebbeeyi ye mmere mu ggwanga, ekitongole ekikola ku muwendo gwebintu mu ggwanga kitegezezza nga ebbeeyi ku bintu ebimu nga sukaali bw’esse. Omu ku bakungu mu kitongole kino Nsubuga Vincent Chris Mukiza, kilo ya sukaali kati egula 2700 […]
UMEME egende-bannakyeewa
Eky’okusazaamu endagaano y’ekitongole ky’eyamaanyalaze ekya UMEME kikyagyamu abantu abenjawulo omwasi. Kino kiddiridde palamenti okuwa amagezi endagaano y’abano esazibwemu lwabutatukiriza bulungi mirimu gyaabwe. Kati sentebe w’ekibiina ekigatta abakozesa ebintu mu ggwanga Mulwani Taminwa agamba endagaano eno yetaaga okuddamu okwekebejebwa. Ono era ayagala okunonyereza kwabo bonna abetaba […]
Muleke ab’amawulire bakole
Poliisi erabuddwa okwewalira ddala okutulugunya banamawulire wamu n’okuggala emikutu gy’amawulire. Kati eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atadde poliisi ku ninga enyonyola ddala lwaki yagaddewo emikutu gya radio ebiri e Kabaale ne Kasese. Ku wiikendi poliisi yazinzeeko emikutu gino nebajiggala nebajiggala lwakukyaaza bavuganya […]