Olwali

Olunaku lw’okulimba- buli omu alwogerako bubwe

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Leero lubadde lunaku lwakulimba naye nga bangi balwogerako bingi Abamu lubanyiiza okuba nti ssi lwakuwummula abalala ate abalala nti luggwaako lutya essaawa omukaaga Naye obadde okimanyi nti abamu olunaku luno lubanyiiza kubanga kizibu okwesiga omuntu yenna by’akugamba. Ate waliwo abagamba nti bbo bakoowa abantu abeekola […]

omwana akoze akanyama

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Omwana asitula obuzito ku myaka 8 gyokka yewunyisizza bangi Brandon okuva mu ggwanga lya Ireland azimbye akanyama era ng’asinga abasajja bangi omuli n’abasitula obuzito buno nga bakulu Ebifanyi bye ebiri ku mutimbagano kati bitambula okukira oluyiira era bangi babirabye

Essasi lirongoseddwa mu mwana

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Essasi eryakubwa omwana omuwere ku mutwe olwaleero lisoleddwaayo oluvanyuma lw’okumulongoosa Amasasi gano gakubwa abatujju abalumba kkanisa mu kibuga Nairobi ekya Kenya Abantu mukaaga beebattibwa ku lunaku olwo okuli ne maama w’omwana ono Essasi eryakuba omwana lyasookera ku nyina era yye n’afa kyokka omwana n’alutonda Tewali […]

Abatunda emmotoka bakaaba

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Abayingiza emmotoka enkadde mu ggwanga bakugenda mu maaso nga beekalakaasa lwa misolo egibajjibwaako Omu ku bayingiza mmotoka okuva mu kibanda kya  Future Group motors Yunus Imaran agamba nti tebagenda kuddamu kutunda mmotoka okutuusa ng’ensonga zaabwe zikoleddwaako Ono agambye nti bateekateeka kusisinkana minista Amelia Kyambadde okubayambako […]

Akakiiko tekannasalawo ku bya Lukwago

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Akakiiko k’eby’okulonda kakyasobeddwa ku by’okutegeka okulonda loodimeeya omuggya Kiddiridde kooti ejulirwaamu okugoba Lukwago yadde nga kooti endala ebadde yakalagira nti adde mu ofiisi Omwogezi w’akakiiko Jotham Taremwa agamba nti bakusooka kwetegereza byasalibwaawo kkooti olwo balabe ekiddirir Taremwa agambye nti tebannafuna kutegeezebwa mu butongole nti Lukwago […]

Amasiro gasenvudde

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda ategeezea abaganda bonna nga ensimbi  zetofaali ezakakunganyizibwa wezikuumidwa mui bwerufu obwekitalo, awatali wadde okukumpanyaako enusu. Bino Katikiro abyogeredde ku Masiro e Kasubi mukaseera kano gyali nga alambula omulimo gwokuzaawo amasiro wegutuuse . Katikiro agambye nti buli nusu ebalibwa nga bwezze , era […]

Ebya Kibwetere bikyaali

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Gavumenti eteekateeka kuddamu kwetegereza kunonyereza okwakolebwa ku bantu abasoba mu 1000 abattibwa e kanungu Ng’ennaku z’omwezi 17 omwezi gw’okusatu mu mwaka 2000, omusajja amanyiddwa nga Joseph Kibwetere yateekera abantu omuliro kyokka nga teri alipoota yali efulumye Minista w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima ategeezezza […]

Piki ziyoleddwa

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Pikipiki ezisoba mu 100 ziyoleddwa mu kkikwekweto ekikoleddwa mu kibuga olwaleero. Kiddiridde ekiragiro okuva eri aduumira poliisi mu kampala n’emirinaano Andrew Felx Kawessi nti piki zonna ezitalina bisanyizo zikwatibwe Aduumira poliisi ye wandegeya, Julius Tusingwire agamba nti ebikwekweto bibadde ku batikka akabindo era nga bino […]

Abakozi basasuddwa

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Abakozi ba gavumenti kyaddaki basasuddwa Omuwandiisi w’enkalakkalira mu ministule y’abakozi ba gavumnti Adhah Muwanga y’alangiridde bw’ati n’ategeeza ng’abakozi abawerera ddala 2000 bwebasasuddwa Ono agambye nti lwaleero werunazibira ng’ensimbi zino ziri ku akawunta z’abakozi Muwanga wabula agamba nti waliwo abamu ku bakozi abalina ebizibu eby’enjawulo nga […]

abavuganya batabukidde gavumenti

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya batabukidde gavumenti ku kubatulugunya ensangi zino Ssabiiti ewedde poliisi yezooba n’abavuganya e Kasese, ne kabale era nga waliwo ne pulogulaamu ezagyibwa ku mpewo lwakukyaaza gen Mugisha Muntu ABabaka okubadde Reagan Okumu, Matthias Mpuuga ne Patrick Amuriat beebuzizza lwaki […]