Amawulire

Abasawo bakomewo

Ali Mivule

April 4th, 2014

No comments

Kawefube w’okusikiriza abasawo bannayuganda abaddukira ebweru okudda ku butaka atandise. Ababaka okuva mu palamenti y’amawanga ga Africa beebamuwomye omutwe okuyamba okwongeza ku basawo mu ggwanga. Ababaka bano bagamba nti ensonga eno bagitegeezaako ne pulezidenti n’agiwagira nga kati okwogereza abasawo bano kwekugenda mu maaso. Omu ku […]

Embaga y’ekirindi mu China

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

  Bano bagattiddwa mu mbaga y’ekirindi e China. Abamu babadde bakuza myaka 10 mu bufumbo.

Gwe bagobye ku mulimu akozze

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

Abantu bangi bassaako omugejjo nga nebwebakola ki tegulina gyegulaga Ne Richard enzaalwa ye Bungereza yakola buli kimu naye nga tasala masavu naye mu bbanga ttomu omusajja ono kati nga wamulabye mutono muzibu Richard ono yagobwa ku mulimu gyebuvuddeko era ogubadde ogubiri kati kabiri olw’ebiroowozo Omusajja […]

Exercise nnungi

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

Okukola exercise eri abantu abalina emyaka 20 kiyamba okuwawula obwongo Abanonyereza okuva mu ggwanga lya America bagamba nti omuntu okudduka, okuwuga oba okuvuga akagaali kimuyambira ddala okulowooza amangu Exercise zino zisinga kuyamba mutima nabwongo okubeera nga biri era ng’eno y’ensonga lwaki biba birungi Okunonyereza okuzudde […]

Embwa enkonzi

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

Poliisi egenda kutandikawo ekifa awanalundibwa embwa enkonzi z’olusu omwezi ogujja Mu kadde kano,embwa enkozi zigyibwa mu mawanga ga bulaaya ng’eno y’ensonga lwaki ssi buli poliisi nti ezirina Aduumira ekiwayi kya poliisi eky’embwa , Dr martin Mugumya agamba nti ekifo kino ekibalirirwaamu akawumbi kalamba kyakuzimbibwa Naggalama

Ebya Lukwago byesibye

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

N’olwaleero luzibye nga kkooti tessizzaawo lunaku kw’enawulirira okujulira kwa loodimeeya Erias Lukwago Lukwago ne bannamateeka be basiibye bagumbye ku kkooti y’okuntikko nga bagaala okujulirwa kwaabwe kuwulirwe Ono yajulira oluvanyuma lwa kkooti ejulirwaamu okusazaamu ekiragiro ekizza Lukwago mu ofiisi gyeyali yakamalamu essaawa ttaano zokka Ng’ali wamu […]

Gavumenti ewanise ku bye Kanungu

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

Gavumenti ewanise ku nsonga ze Kanungu Minisita akola ku byobukuumi Muruuli MUkasa agambye nti bafunye okunonyereza ku nsonga z’omusajja Joseph Kibwetere eyatta abantu naye nga kirabika bigaanye Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’okwerinda, Muruuli agambye nti ensonga zino zatuuka n’okuyingizibwaamu abakessi okuva emitala […]

Aba UPC bawagidde wa DP e Luweero

Ali Mivule

April 2nd, 2014

No comments

Ab’ekibiina kya UPC baazeewo okusimba emabega wa Brenda Nabukenya mu kulonda omubaka omukyala owe Luweero. Kiddiridde kooti ejulirwaamu okugoba Nabukenya n’erangirira nti wabeewo okuddamu okulonda Amyuka akulira ekibiina kya UPC Joseph Bbosa agamba nti munna DP Brenda Nabukenya munyeevu kale nga bagaala kwongera kumunyweeza sso […]

Ono bulooka emusingira buli kimu

Ali Mivule

April 2nd, 2014

No comments

Abantu bangi balina byebayoya nebikusobera Mu ggwanga lya Buyindi waliyo omusjja atawoomeddwa kulya bulooka bitooke byebigwa Omusajja ono agamba nti kino yatandika okukikola wa wa myaka 10 era nga bw’omuwa enkoko n’ettafaali akulekera enkoko yo. Ono buli lunaku alya ettafaali limu

Abakazi tebaagala kukula

Ali Mivule

April 2nd, 2014

No comments

Eky’abakyala obutayagala kukula kirabika kiva buto. Mu ggwanga lya Bungereza, Nalongo asese enseko kata afe oluvanyuma lwa muwala we omu ku balongo okukaaba ng’awulidde nti awezezza emyaka ena. Omulenzi yye alabise nga tafaayo naye akawala kano kagambye maama waako nti okukuza amazaalibwa kitegeeza kukaddiwa ate […]