Amawulire

Gavumenti ewanise ku bye Kanungu

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

Kaihura and Aronda

Gavumenti ewanise ku nsonga ze Kanungu

Minisita akola ku byobukuumi Muruuli MUkasa agambye nti bafunye okunonyereza ku nsonga z’omusajja Joseph Kibwetere eyatta abantu naye nga kirabika bigaanye

Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’okwerinda, Muruuli agambye nti ensonga zino zatuuka n’okuyingizibwaamu abakessi okuva emitala w’amayanja okuyigga kibwetereera kyokka nga tewali kirabikako

Olunaku lwajjo minister akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Aronda Nyakairima yategeezezza nga bwebateekateeka okuddamu okunonyereza buto kubanga ebisooka byagaana

Kibwetere owe Kanungu yakungaanya abantu abasoba mu 100 mu kkanisa n’abakumako omuliro ng’abateegezezza nga bwebagenda butereevu mu ggulu.