Amawulire
Makindye awuuma- Obukadde 90 bwebwakasondebwa
Obukadde obusoba mu 90 bwebusondeddwa mu division ye Makindye mu kawefube w’okusonda ensimbi z’okuzimba ekizimbe kya Bulange Plaze n’okuzzawo amasiro gaba ssekabaka. Emizira gibutikidde ekitundu nga Katikiro Charles Peter Mayiga ayanirizibwa.
Kasokoso bazzeemu- omu akubiddwa essasi- omwana azirise
Omuntu omu akubiddwa essasi ku Mukono n’atwalibwa mu ddwaliro nga ali bubi mu kwekalakaasa kw’abatuuze abalwanagana ne poliisi wali e Kasokoso. Waliwo n’omwana azirikidde mu ddwaliro erimu eriri okumpi oluvanyuma lwa tiyagaasi okumuyitirirako gy’abadde yeebase. Poliisi ekedde kulwanagana n’abatuuze bano abawakanya ekya poliisi okukwata […]
Ono alaalidde
Omusajja abadde atamidde ayingidde mu kibookisi ky’abaana ng’abaziinya mooto beebamujjeeyo.
abawandiisa abantu e Masaka beecwacwanye
Abawandiiisa abagaala okufuna Densiite e Masaka bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okuweebwa ensimbi entono kw’ezo ezabasuubizibwa Bano ababadde basuubirwa okufuna wakati w’emitwalo 3 ne 5 bawereddwa omutwalo gumu gwokka ekibajje mu mbeera Bano baweze nti ssinga tebasasulwa lunaku lwa nkya tebagenda kuddamu kuwandiika bantu
Bannakyeewa bawakanya eky’okugoba
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu batabukidde abakulira ettendekero lya Bishop Barham olw’okugoba abawala abafuna embuto Ab’ettendekero lino eririna akakwate ku lye mukono baagobye abawala bonna abaatakola bigezo olw’okubeera embuto. Enkola yeemu eno eri ne ku ttendekero lye Mukono nga afuna olubuto nga tali mufumbo agobwa Nga boogerako […]
Abalina kkolera kati basoba mu 80.
Omuwendo gw’abantu abafunye obulwadde bwa Cholera mu disitulikiti ye Moyo gulinnye Abantu abalina obulwadde buno baweredde ddala 81 okuva ku 64 ababadde mu malwaliro olunaku lwajjo. Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza palamenti olw’eggulo lwaleero nti bakyagenda mu maaso n’okukebera abantu abalala okukakasa oba balina […]
Omusujja gw’ensiri kikyaali kizibu mu bukiikakkono
Obulwadde bw’omusujja gw’ensiri bwebwakasinga okutta abantu mu bukiikakkono bw’eggwanga Kino kiva ku nsonga nti abantu bangi omusujja guno tebagutwaala ng’ekikulu era nga bakola kitono okuguziyiza. Omuwi w’amagezi ku nsonga z’omusajja gw’ensiri Enisa Mulwana agamba nti ku bantu ekikumi beebajjanjaba okuva ebweru ne munda, ebitundu nkaaga […]
Omulambo guzuuse
Oluvanyuma lw’ennaku nga poliisi eyigga omulambo gw’omuvubuka eyagudde mu mazzi, kyadaaki azudde omulambo gwe Matovu Ndawula nga mutabani w’omugagga Yusuf matvu amanyiddwa nga Youma yabbidde bweyabadde ku kaato akazungu nga beesanyusaamu ne mikwano gye Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti omulambo kyaddaki baguzudde era […]
Kiprotic awummuddemu
Omuddusi w’embiro empanvu Steven Kiprotich ebyokwetaba mu mbiro za marathon omwaka guno abyenenyezza. Kiprotich kino akikoze okwetegekera empaka za common wealth ku nkomerero y’omwaka guno nga era bweyetegekera eza Olympics mu Brazil mu 2016. Kiprotich finished 12th in the recently concluded London Marathon.
Bannakenya beewandiisa
Ab’obuyinza mu district ye Namayingo ku nsalo eyawula Uganda ne Kenya beralikirivu olwabanakenya abatandise okusala ensalo nga besogga uiganda okwewandiisa okufuna endaga muntu z’eggwanga eziri mu kugabwa mu kiseera kino. Kino okusinga kiri ku bizinga bye Dorwe,kandeege, ne Goloofa ewali bannakenya abanji nga era banji […]