Amawulire

Kasokoso bazzeemu- omu akubiddwa essasi- omwana azirise

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

 KAsokoso

Omuntu omu akubiddwa essasi ku Mukono n’atwalibwa mu ddwaliro nga ali bubi mu kwekalakaasa kw’abatuuze abalwanagana ne poliisi wali e Kasokoso.

Waliwo n’omwana azirikidde mu ddwaliro erimu eriri okumpi oluvanyuma lwa tiyagaasi okumuyitirirako gy’abadde yeebase.

Poliisi ekedde kulwanagana n’abatuuze bano abawakanya ekya poliisi okukwata ssentebe waabwe ku bigambibwa nti ono yakulemberamu ekibinja ky’abatuuze abakkakkana ku Meeya w’ekibuga kya Kira Mamerito Mugerwa ne bamupacca empi ku matama n’okwookya emmotoka omwaka oguwedde.