Amawulire

Pulezidenti Museveni alumbye ab’ebibira

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

M7 inspects

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni anenyezza nyo ab’ekitongole ky’ebibira mu ggwanga obutafaayo nga ebibira bitemebwa bigwaAwo.

Bwabadde atongoza okusimba emiti ku luguudo lwa Northern bypass, Museveni ategezezza nga abakulira ekitongole kino bwebasazewo kutuula mu ofiisi nga eno ebibira bitemwa bigwawo.

Museveni agamba nti buvunanyizibwa bwa kitongole kino okulaba nga emiti tejitemebwa saako n’okulaba nti emiti emirala gisimbibwa.

Ono era akubirizza bannayuganda okwewala okutema emiti wabula basimbe mirala buli lunaku.

Museveni agamba singa okutema emiti tekulwanyisibwa,Uganda eyolekedde akatyabaga.