Amawulire

Police ne KCCA baakukwatagana mu kutebenkeza kampala.

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba samuel Abakulu mu kitongole ekya KCCA bategeezeza nga bwebagenda  okukwatagana ne police ya kampala n’emiriraano okutandika okuyambagana  mu ngeri ey’okuduukirira ebigwa tebiraze. Akawungeezi ak’eggulo Executive director wa kampala Jenifer musisi yawayizaamu  n’aduumira police eno omujja  omukulu  Moses Kafeero nebakaanya okusisinkana nga entakera okuteseganya […]

KCCA enenyezza nannyini kizimbe ekyagudde

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kineyezza Patrick Byashaki, nanyini kizmbe ekyagudde e Buziga olunnaku lwe ggulo nti yajemera ebiragiro byabwe bweyava ku plana yekizimbe gyebakakasa. Olunnaku lwe ggulo abantu 20 bebasimattusse okufa nebabuuka nebisago songa ekizimbe ekyemyaliro 4 bwekasse ku lya […]

Cholera yeyongedde mu Kampala

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa Oluvanyuma lwekirwadde kya Cholera okukaksibwa mu Kampala, abantu emitima gyewanise, era bali mu kutya. Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akolanga akulira ebyobujanjabi mu ministry yebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa abantu 7 bebakaksibwa nga 4 bava mu bitundu bye Kalerwe. Abalala 3 bajiddwa mu district […]

Aba FDC bambalidde gavumenti olwo’butawa UNBS nsimbi zimala

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Aba FDC batabukidde gavumenti ku nsona zekitongole ekikebera emutindo ekya UNBS, nga bagamba nti bano balemedwa okubavugirira okukola emirimu. Bwabadde eyogerako ne banamawulire wano Najjanankumbi, amyuka omwogezi wekibiina Paul Mwiru agambye nti bano mu tebalina  busobozo na bukugu okwekebejja omutindo. Bano tebalina […]

7 bebanunudde ku muzikiti gwa USAFI bali mbutto

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa Okunonyereza okugya ku banatu abakwatibwa ku muzikiti gwa Usafi wiiki ewedde, kulaze nti ku bawala 11 bebanunula, 7 bali mbutto atenga kisubirwa nti babakaka akakboozi. Bwabadde ayogera ne banamawulire ku Media Center olwaleero, omumyuka womwogezi wa poliisi Patrick Onyango ategezeza nti abaana bano […]

Police eyongedde okusoggola ebikwata ku bantu abaakwatibwa ku USAFI.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Police etegeezeza nga nga bweyongedde okukwataagana n’ebitongole ebikola ku by’okwerinda ebirara okwongera okugaziya mu kunonyereza ku bantu bebaakwata wano ku USAFI , songa era balina n’akakwate kukuttibwa kwa Suzan magara. Bwabadde eyogerako ne banamwulire  amyuka ayogerera police ye gwanga Patrick Onyango  agambye […]

Minisita w’ebyetaka ayongedde okujeemera akakiiko akanonyereza ku by’etaka.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.   Ssentebe w’akakiiko akanonyereza ku mivuyo gy’etaka omukyala Justice Catherine Bamugemeire akaaye okukkakana nga awerezza ekibaluwa kibakuntumye eri minister akola ku by’etaka omukyala Betty Amongi, oluvanyuma lw’okugaana okulabikako leero nga bwabade asuubirwa. Kinajjukirwa nti minister ono abadde alina okujja anyonyole ku bikwatagana […]

Mu kenya amataba gaakatta abantu abasoba mu kikumi.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Wano e  Kenya agavaayo galaga nga abantu 112 bwebafudde amataba, songa abasoba mu 260,000 basenguse okuva mu maka gaabwe. Ekitongole kya Kenya ekikola ku ntebereza yobudde kiraze nga embeera eno bwegenda okwongera okubijja, nadala ku mbalama z’enyanja Nalubaale ekitundu kye Rift Valley, […]

Abasomye eby’amafuta basabiddwa okwewandiisa eri gavumenti.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Ekitongole ekikokola ku by’amafuta ekya Petroleum Authority of Uganda kisabye bannayuganda bonna abalina  obuyigirize mu byamafuta okugenda beewandiise mu kitabo omuwandiikibwa buli mukugu alina ky’amanyi ku nsonga zino. Kinajukirwa nti mukaseera kano uganda esuubira nti wegunaakonera omwaka 2020 nga etandise okufulumya amafuta, […]

Emikutu gy’amawulire okuli BBC ne VOA gigobeddwa mu Burundi.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba. Abalwanirizi b’edembe ly’obuntu basabye amawanga aga East Africa, kko n’abakwatibwako ensonga okuvaayo okuvumirira eky’asalidwawo egwanga lya Burundi, nga bano baaweze emikutu gy’amawulire okuli BBC ne voice of America okuddamu okukolera mu gwanga lino. Bano okufuna emitawaana kyadiridde  omukutu gwa BBC ogwa Bufalansa […]