Amawulire

Mu kenya amataba gaakatta abantu abasoba mu kikumi.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Wano e  Kenya agavaayo galaga nga abantu 112 bwebafudde amataba, songa abasoba mu 260,000 basenguse okuva mu maka gaabwe.

Ekitongole kya Kenya ekikola ku ntebereza yobudde kiraze nga embeera eno bwegenda okwongera okubijja, nadala ku mbalama z’enyanja Nalubaale ekitundu kye Rift Valley, amasekati ga Kenya n’ewalala.

Bbo abaduukirize ob’omusalaba omumyufu bagamba nti amasaza eg’egwanga lino 32  gegasinze okukosezebwa amataba gano.

Bino webigidde nga newano mu  uganda e kitongole ekya Redcross kyakalabula abantu okwamuka omugga  Manafwa  olwenkuba egenda okubasengula.