Amawulire

Emikutu gy’amawulire okuli BBC ne VOA gigobeddwa mu Burundi.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Abalwanirizi b’edembe ly’obuntu basabye amawanga aga East Africa, kko n’abakwatibwako ensonga okuvaayo okuvumirira eky’asalidwawo egwanga lya Burundi, nga bano baaweze emikutu gy’amawulire okuli BBC ne voice of America okuddamu okukolera mu gwanga lino.

Bano okufuna emitawaana kyadiridde  omukutu gwa BBC ogwa Bufalansa okuwayaamu  ne munansi wa Burundi eyadukira mu Brussels  naabaako beyayogedde ku President Pierre Nkurunziza okukakana nga anyiize.

Mu bukambwe buno , president Nkunziza emikutu gino yagitadeko envumbo ya myezi 6 bamale okuddamu empisa.

Kati wano mu Uganda twogedeko n’akulira ekibiina ekirwanira edembe ly’obuntu ekya Foundation for human rights Dr living stone ssewanyana nagamba nti buli asobola agwana eveeyo ebeeko kyayogera ku nsonga eno.