Amawulire

Abasomye eby’amafuta basabiddwa okwewandiisa eri gavumenti.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Ekitongole ekikokola ku by’amafuta ekya Petroleum Authority of Uganda kisabye bannayuganda bonna abalina  obuyigirize mu byamafuta okugenda beewandiise mu kitabo omuwandiikibwa buli mukugu alina ky’amanyi ku nsonga zino.

Kinajukirwa nti mukaseera kano uganda esuubira nti wegunaakonera omwaka 2020 nga etandise okufulumya amafuta, wabula nakaano abantu abalina obukugu mu nsonga zino bakyali babbula.

Twogedeko ne James Musherure, nga ono munkungu okuva mu kitongole kino nagamba nti kati batandise okuwandiika abantu bano abalina obukugu, kale nga kino kiyambeko company ezibeetaga okwanguwa okubafuna