Amawulire
KCCA enenyezza nannyini kizimbe ekyagudde
Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kineyezza Patrick Byashaki, nanyini kizmbe ekyagudde e Buziga olunnaku lwe ggulo nti yajemera ebiragiro byabwe bweyava ku plana yekizimbe gyebakakasa.
Olunnaku lwe ggulo abantu 20 bebasimattusse okufa nebabuuka nebisago songa ekizimbe ekyemyaliro 4 bwekasse ku lya Buganda ku Gava road.
Bwabadde ayogerera mu lutuula lwa council akulira ebyokuzimba nokutegekera ekibuga Atwiine Kanuniira agambye nti KCCA yali ekakasizza plana yekizimbe kino nga kya myaliro 2 gyokka wabula Byashaki yewagguila nazimba 4.
Atwine ategezeza nti era ono babadde bamuwandikidde nga bamulabula, bwebakizudde nti yayongeddeko omwaliro ogwokuna wabula teyafaayo, yagenda mu maaso nazimba nogwokuna.