Amawulire

Minisita w’ebyetaka ayongedde okujeemera akakiiko akanonyereza ku by’etaka.

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

 

Ssentebe w’akakiiko akanonyereza ku mivuyo gy’etaka omukyala Justice Catherine Bamugemeire akaaye okukkakana nga awerezza ekibaluwa kibakuntumye eri minister akola ku by’etaka omukyala Betty Amongi, oluvanyuma lw’okugaana okulabikako leero nga bwabade asuubirwa.

Kinajjukirwa nti minister ono abadde alina okujja anyonyole ku bikwatagana nensawo enzibizi ey’ebyetaka-[ land fund], nga kwogasse n’ebyokubba etaka erisangibwa wano e kololo ,  kyoka talabiseeko.

Kati kino kyekitanudde omulamuzi Bamugemeire okumuwereza ebaluwa eno, nga agamba nti ono alinga ayisa amaaso mu kakiiko kubanga guno mulundi gwakubiri nga ayitibwa kyoka nga tajja

Ono agamba nti singa omukyala ono taalabiko enkya ku saawa satu ez’okumakya ekigenda okudako kugenda kuba kuwereza baluwa eri Police emukwate , aletebwe nga omuzi w’emisango.

Wabula ye minister ebaluwa gyawandiikidde akakiiko mu kwanukula, agamba nti ssabaminisita  we gwanga Dr Ruhakana Rugunda yeyamulagidde obutatwa biwandiiko ebya land fund mu kakiiko kano okujjako nga cabinet emaze okubyetereza