Amawulire

Cholera yeyongedde mu Kampala

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Oluvanyuma lwekirwadde kya Cholera okukaksibwa mu Kampala, abantu emitima gyewanise, era bali mu kutya.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akolanga akulira ebyobujanjabi mu ministry yebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa abantu 7 bebakaksibwa nga 4 bava mu bitundu bye Kalerwe.

Abalala 3 bajiddwa mu district ye Mpigi.

Dr Mwebesa ategezezza nti bano bagenda mu maaso nokujanjabibwa mu ddwaliro lya China-Uganda Friendship Hospital e Naguru.

Wiiki ewedde ministry yebyobulamu yakaksizza Cholera mu division ye Makindye nemu district Tororo ne Amudat.

Kati abantu babulijjo basabiddwa okukuuma obuyonjo nga banywa amazzi amayonjo era amafumbe, okugogola emyala nokunaaba engalo ne ssabuuno nga bakava mu kabuyonjo.

Mungeri yeemu kyo ekitongole kya Redcross kitegeezezanga bwekyongedde amaanyi mu kuduukirira ebitundu ebikosedwa, ekirwadde kya Cholera.

Tutegeezeddwa nti mu kaseera kano ekirwadde kikendedde mu nkambi ye kyaka 2, ne kyangwale.

Omwogezi wa Red cross Irene Nakasita atugambye nti mu kaseera kano batandise okutuusa amazzi amayonjo mu bitundu bino, okusomesa abantu kungeri eyokulwanyisamu, nokubwewala.

Ono mungeri yeemu agamba bagala kulaba nga kaweefube ono bamutuusa nemu Kampala, ekirwadde gyekyagobye.