Amawulire

Police ne KCCA baakukwatagana mu kutebenkeza kampala.

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba samuel

Abakulu mu kitongole ekya KCCA bategeezeza nga bwebagenda  okukwatagana ne police ya kampala n’emiriraano okutandika okuyambagana  mu ngeri ey’okuduukirira ebigwa tebiraze.

Akawungeezi ak’eggulo Executive director wa kampala Jenifer musisi yawayizaamu  n’aduumira police eno omujja  omukulu  Moses Kafeero nebakaanya okusisinkana nga entakera okuteseganya ku by’okwerinda, nga kwogase n’okutekateeka eby’entambula bya Kampala, okwewala omugoteko.

Ye kafeero ategeezeza nga bwagenda okuyambako KCCA mukuyigga abantu abeegumbbulidde omuze ogw’okuzimba ebizimbe  biganyegenya okukakana nga bigudde nebitta abantu.