Amawulire

E Makerere kwekalakaasa

Ali Mivule

February 11th, 2013

No comments

Abayizi e Makerere basazeewo okweyiwa ku nguudo beekalakaase olw’engeri gyebasasulamu fiizi. Ettendekero ligamba nti omuyizi alina okusasula ebitundu 60% ku kikumi eza fiizi,abayizi kyebawakanya. Bano nga bakutte ebipande kko n’ematabi g’emiti obwedda bayita ku nguudo z’omu university ne mu bisulo okulaga obutali bumativu. Wabula omwogezi […]

Poliisi egaanye okujja emisango ku balwanyisa enguzi abakwatiddwa

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Poliisi esimbye nakakongo n’egaana okujja emisango ku balwanyisa enguzi abakwatiddwa olunaku lwajjo. Bano ababadde batambulira mu kisinde kya balaza enzirugavu bakwatiddwa olunaku lwajjo nebaggulwaako emisnago egyekuusa ku kukuma mu bantu omuliro. Olwaleero poliisi esisisinkanye abantu bano kyokka n’egaana ebyokubajjako emisango. Amyuka akulira poliisi, Martin Ochola […]

Abakozi mu ddwaliro e jjinja bakanze okussa wansi ebikola

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Abakozi mu ddwaliro ekkulu e jjinja bakanze nga bwebagenda okussa wansi ebikola olw’obutafuna musaala. Bano bagamba nti okuva mu mwezi gw’omunaana omwaka oguwedde nga tebafuna yadde ekikumi ate nga bbo bakola, balya era banywa. N’akulira eddwaliro lino akkirizza nti mu butuufu tebasasula bakozi kyokka n’akissa […]

Loodi meeya abikudde ebyaama ku katale ka USAFI

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Akatale ka USAFI kassibwaawo okuzzaamu abatembeeyi abagobwa ku makubo. SSalongo Erias Lukwago agamba nti ettaka okuli akatale kano liriko enkayaana okuva ababiloole lwebagobwaawo nagagga Kassim Ssessimba Abasuubuzi bbo bajja beeyongera okwettanira emidaala nga gwafuuse dda mugano eri aba Boda abakozeewo edda siteegi.

Akabenje e Busega

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Abantu 16 bafunye ebisago bya maanyi mu kabenje akagudde e Busega. Akabenje kano keetabidddwaamu motoka pickup double cabin ne’kimotoka kya canter. Abakoseddwa bonna bava mu maka gamu nga babadde bagenda mu kyaalo. Omu ku bafuney ebisago, Amina Namuddu agamba nti dereeva wa canter emmotoka emulemeredde […]

Abesenza ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka basenguddwa

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Poliisi emalirizza okusengula abantu abaali besenza ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka Bano babadde bamazeeko emyaka egisoba mu esatu era nga bangi ddala bava mu maka agasoba mu 100 Akulembeddemu omulimu gw’okubasengula, Moses Kirunda ategeezezza nga bano bwebabanabidde mu maaso oluvanyuma lw’okutegeera nti batandise okweyita ba […]