Poliisi ku muyiggo gw'omusajja enzaalwa ya China lwakukusa baana
Yang Zhengun n'omulala ategerekese nga Faith Orlando baggulwaako emisango gy'okukusa abaana kyokka nga kati emirundi 2 nga tebalabikako.
Ababiri bano baakukusa abaana babiri nga kuno kuliko omwana ow'emyaka 9 ne 13 okuva e Gulu okubatuusa mu Kampala okubakubisa obwa maalaya.
Amyuka omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango asabye omuntu yenna…
Abawuliriza ba Dembe FM obawaddeyo emitwaalo 20 eri omulimu gw’okuzzaawo amasiro ga ba ssekabaka .
Mu ngeri yeemu era baguze ne certificate eziweza emitwalo kkumi.
Bano basisinkanye minister w’ebyemizannyo Henry Ssekabembe abaddewo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Ng’ayogerako gyebali, Owek Sekabembe abasabye okwettanira emilimu gy’emikono neyebaaza ne Radio ya Dembe musaanikira mikutu olw’okusomesa abantu ba Kabaka.
Mu ngeri…
Amasimu g'abantu abatannawandiisa masimu gaabwe gasalidwaako.
Omwogezi w'akakiiko akakola ku byempuliziganya, Fred Otunnu agamba nti bakkiriza kkampuni z'amasimu okuggyako amasimu gano okuzuukusa ababadde beebase.
Otunnu agamba nti nsalessale eyaweebwa abantu okuwandiisa amasimu gaabwe eggwaako nga 31st omwezi guno era nga abanaaba tebannaba kwewandiisa bakugyibwa ku mpewo.
Abagyiddwaako bagenda kumala essaawa 12 nga tebasobola kukuba yadde okufuna amasimu oba…
Omuliro gusanyizawo bya bukadde oluvanyuma lw’okukwata ekisulo ky'abawala ku somero lya Nkutu memorial school e Iganga .
Abayizi bafiiriddwa emifaliso, ebitabo n'ebirala ebikozesebwa mu kusoma.
Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka.
Wabula amyuka RDC we Iganga David BBaale agamba abayizi ab'efujjo bandiba nga beebakumye omuliro guno.
Gyebuvuddeko abayizi bano bekumyeemu ogutaaka ne bekalakaasa olw'endya embi era bayonona ebintu ebitali bimu ekyavirako…
Eng Charles Kazibwe afudde amakya g’olunaku olwalero .
Kazibwe abadde n'obuzibu mu lubuto era abadde ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Nsambya .
Kazibwe yeeyali Bba w'eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Specioza Wandira Kazibwe.
Twogeddeko n'omu ku mikwano gye Monica Asaba atutegeeza nga abasawo bwebafubye enyo okutaasa obulamu bw'omugenzi naye ne bigaana.
Agamba kati bali mu kwogerezeganya n'ab'enganda z'omugenzi okulaba nga omulambo…
Ssabassajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asabye nti wabeewo ekkomo ku kukozesa eryaanyi eggwaaga bweriba nga lyakugenda mu maaso
Ng'ayogerako eri Nasisi w'omuntu, Ssabasajja agambye nti kyetaagsa newabawo okuteesa 'okukwatagana ku nosnga ezitali zimu.
Agamba nti emmundu bazirabye naye nga teziyamba
Bw'atuuse ku nsonga y'olulimi, Kabaka agambye nti ennimi enzariranwa zirina okutumbulwa kubanga ennono kw'etambulira
Asabye nti wabeewo…
Ssabasajja atuuse mu lubiri e mengo wakati mu nduulu okuva eri abantu abeetabye ku mukolo guno.
Bazzukulu ba Kayiira ab'embogo beebazze bakongozze omuteregga.
Emikolo gino gyetabiddwaako ne president Museveni
Gavumenti ya NRM kyaddaaki ekkirizza okuzza ebintu bya Buganda by'erudde ng'etuddeko.
Endagaano eyassiddwaako emikono wakati wa gavumenti eya wakati ne mengo eraga nti ebyo byonna ebyatwalibw aomuli ettaka ebizimbe n'obuwumbi 20 byakuddizibwa
Endaagano eno eraga nti kino kyatandise okukola nga lumu omwezi guno ate ng'ettaka lino n'ebizimbe bilina okuggwaayo nga omwaka 2015 tegunnatuuka
Katikkiro wa Buganda Charles Peter…
Ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakwanze sipiika ekiwandiiko ekiwakanya okuwumuza banaabwe okumala entuula ssatu.
Akulira oludda oluvuganya Nathan Nandala Mafaabi agamba baagala sipiika asazeemu ekyasaliddwawo omumyuka we Jacob Oulanya kubanga yakikoze mu bukyamu ekintu kyebatayinza kukiriza.
Mafabi alumirizza nga olanya bw'azze nga akola ensobi mu ntuula ez'enjawulo ekintu ekirina okukoma.
Ababaka bano era baweze okufuluma nga palamenti buli bwe…
Lord mayor wa kampala Erias Lukwago akyagenda maaso n’okwewozako maaso g’akakiiko akawulira okwemulugunya kaba kansala 17 abaagala okumujjamu obwesige.
Munamateka wabakansala bano Kiryoowa Kiwanuka alumiriza Lukwago okulemererwa okuyita enkiiko ezabulijjo neyemalira ku zeyayitanga nga alina ekigendererwa.
Agattako nti mu mateeka buli luvanyuma lwa myeezi esatu waba walina okuberawo olukungaana ekintu ekitaakolebwa mu myezi etaano.
Wabula mu kwewozako kwe,…