Omuntu omulala kikakasiddw anti alina omusujja oguva nkwa z’omu nsiko ogumanyiddwa nga Congo Crimean Hemorrhagic Fever.
Ono ali mu ddwaliro e Mulago ng’agyiddwa Nansana
Yasin Kalungi yeeyali bba w’omukyala eyafa obulwadde buno sabiiti ewedde
Omwogezi w’eddwaliro lye mulago, Enock Kusaasira agambye nti omusajja ono mu kadde kano bamwawudde nga bw’ajjanjabibwa
Bakuddamu okumwekebejja kyokka ng’ate ab’oluganda lw’omukyala eyafa abalala 3…
Kampala capital city authority efulumizza enteekateeka namutayiika mw’egenda okuyita okuwandiisa piki piki mu kampala.
Piki ezigenda okuwandiisibwa zeezikola bodaboda n’ezo ez’obw annayini
Omulimu gwakutandika nga 19 okutuuka nga 22 ate nga bbo abalian ezitakola boda bawkongerwa wiiki okuziwandiisa
Akulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi agamba nti abagoba ba bodabobda bonna bagenda kuweebwa enamba ezigenda okuwandiikibwa ku bikabuuti byaabwe…
Embeera eyongedde okutereera eri omuddusi Stephen Kiprotich
President Museveni amuwadde emmotoka ekika kya Mitsubishi Pajero n’enyumba
President era abaddusi bonna abagenda e Moscow mu gya babinyweera nabo abawadde obukadde kkumi buli omu.
N’oluguudo olugenda ku kyaalo kiprotich gy’ava lwakukolebwa n’obuyambi okuva mu banka y’ensi yonna.
President okukola bino abadde asisinkanye ekibinja ekyakiikirira Iganda mu mpaka zino mu Russia.
President agambye…
Kawefube w’okusendasenda abasomesa be Makerere okudda ku milimu agudde butaka
Olukiiko oluyitiddwa akakiiko akaddukanya etendekero n’abasmesa lwabuuse tewali kituukiddwaako.
Owmogezi w’abasomesa bano Louis Kakinda agamba nti bategese olukiiko olulala ku lunaku lwa balaza okugenda mu maaso n’okuteesa
Kakinda wabula agamba nti musanyufu nti ab’ettendekero bakkirizza okuteesa
Abasomesa bano bassa wansi ebikola nga bagaala kwongeza musaala ebitundu 100 ku 100.
Ministry y’ebyobulamu egamba nti yakulangirira ng’eggwnaga bweriweddemu ekirwadde ekyefananyirizaako ekya Ebola ekimanyiddwa Congo Crimean hemorrhagic fever.
OMuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agamba nti kino bajja kukikola ssinga tewabaawo Muntu yenna addamu kufuna kirwadde kino.
Omuntu omu yeeyakafa ekirwadde kino ate omulala akyajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo
Ono wabula asabye abantu okwewala okukwata mulala mu ngalo…
Ekitongole kya KCCA kimalilizza entegeka z'okuwandikka abavuzi ba bodaboda bonna abakolela mu Kampala nga omulimu gwo okutandika okubawandika gutandika nga 9 omwezi ogugya.
Akulira emilimu mu kitongole kya KCCA Jennifer Musisi agamba nti bamalirizza okukwatagana ne polisi ye bidukka ,abakungu mu minisitule ye bye ntambula kko n’ebibina bya bavuzi ba bodaboda okulaba nga omulimu guno gugenda…
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by'obuzimbi basazeewo okuyita senkaggale wa Poliisi Gen Kale Kaihura
Gen Kaihura ayitiddwa okutangaaza ku byayogeddwa minister Aida Nantaba nti y’akulembeddemu ababba ettaka
Nantaba yategeezezza nga buli w’alaga awali enkayaana z’ettaaka bw'asangawo omutwe gwa Kaihura naddala mu district gy’ava eye Kayunga
Ekiteeso ekiyita Kaihura kireeteddwa omubaka we Kilak, Gilbert Oulanyah ne…
Kampuni ya Monitor Publications olunaku lwaleetro ekiise embuga n’okuduukirira emilimu gya ssabasajja kabaka
Abakozi ba Monitor publication etwala Dembe FM batutte obukadde 2 bwebawaddeyo eri omulimu gw’okuzimba amasiro ate kko akakadde ka certificate okuddukanya emilimu gy’obw akabaka
Bano bakulembeddwaamu akulira kkampuni eno Alex Asiimye ategeezezza nga kino bwekikoleddwa okwongera okukwatagana n’abantu byebagaala okuva lwekiri nti Monitor b’ewereeza
Omwogezi…
Minister akola ku by'ettaka Aidah Nantaba ayongedde okulumiriza police nga bweyetabye mu kubba ettaka naddala mu kitndu kye kayunga ky'akiikirira .
Bino Nantaba abyogedde alabiseeko mu maaso g'akakiko ka parliament akakola ku by'okuzimba akabadde katunula mu mbalirira ya ministry ye
Ono ategeezeza akakiiko nti mu buli kitundu ky'abadde agendamu ewali enkaayana z’ettaka, akizudde nga police y'ebadde emabega…
Abasumba abana abasingisibwa omusango gw’okusiiga omusumba Robert Kayanja enziro bajulidde
Omusumba, Solomion Tamale, Martin Sempa, Robert Kayiira ne Micheal Kyazze basingisibwa omusango gw’okusiiga omusumba Robert Kayanja enziro bwebategeeza nga bwe yasiyaga abavubuka abasabira mu kkanisa ye
Bano balagirwa okusasula akakadde kamu buli omu n’okukola bulungi bwa nsi okumala emyezi mukaaga
Abasumba bano bagambye nti yadde bakola ebibonerezo ebyaabwe,…