Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okunonyereza ku mwana ow’omwezi ogumu eyabbiddwa
Omwana ono ow’obulenzi yabuze olunaku lwajjo.
Akulira poliisi ye Mulago, Hashim Kasinga agamba nti omwana ono yabuze ku ssaawa bbiri ez’oku makya olunaku lwajjo kyokka nga nyina yawaabye ku ssaawa kkumi ez’olweggulo
Omwana ono wa Aisha Nambejja owe Kamwokya nga yabadde amuleese kumugema
Omukyala ono yeemuluddeko katono n’agenda mu…
Eyali amyuka omukulembeze w'eggwanga Prof Gilbert Bukenya abanja.
Ono agamba nti tasasulwa nga yadde ekikumi ku nsimbi ezirina okuweebwa abaali abamyuka b'omukulembeze w'eggwanga.
Ono agamba nti yakawandiika ebbula ssatu ng'abanja naye nga teri kavaayo.
Bino bizze ng'ababaka mu lukiiko olukulu olw'eggwanga bakemulugunya ku ky agavumenti obutasasula abaali abamyuka b'omukulembeze w'eggwanga ne ba ssabaminisita
Ba kansala abagaala loodi meeya Erias Lukwago agyibweemu obwesige baliko ababakozesa
Abategeezezza bino beebannamateeka ba Erias Lukwago bwebabadde bafundikira okwewozaako kwaabwe mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala 17 abagaala agyibweemu obwesige.
Bano abakulembeddwaamu munnamateeka, Medard Ssegona bagambye nti akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi y’akozesa ba kansala bano era nga beesanga bassizza emikono ku kiwandiiko.
Ono…
Enkuba etandise okutonnya etambuza bangi akanaginagi
E Bwaise abaayo batandise okusula nga besimbye olw’amazzi agabamazeeko obwekyusizo.
Enkuba ya leero erese bangi bafiiriddwa byonna byebazze bakolerera
Bino bizze ng’ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde kyakamala okulangirira ng’enkuba bw’etagenda kusalako okutuukira ddala mu gwe kkumi n'ogumu.
Omusajja eyayokya mukyala we n’asirikka okufuuka evvu asinziddwa ku mere e Luzira
Egesa Yoweri nga mutuuze we Kakiri mu Kayunga yayiira mukyala we amafuta nga yebase n’amala n’mukoleeza
Obuzibu bwonna bwava ku mukyala ono omugenzi Thereza okugaana okugenda okuziika neighbor eyali efudde nga bba bweyalia mulagidde
Omusajja ono teyegaanye musango guno bwabadde mu maaos g’omulamuzi Margret Tibulya nga…
Bannayuganda ababeera emitala w’amayanja bagaala kufuna mukiise mu palamenti
Akulira ekibiina kya Oxfam International, Winnie Byanyima asabye gavumenti okutunuulira abantu bano kubanga beebatunda Uganda emitala w’amayanja
Ono yabadde ayogerera mu Lukiiko olugatta bannauganda ababeera mu bukiikakkono bwa America
Ono era yawadde bannayuganda bano amagezi okutwaala ensonga eno mu maaso kubanga kigasa bbo okusooka n’eggwanga okutwaliza awamu,.
Byanyima era agamba…
Kampala capital city authority eyongedde okutabukira abatembeeyi
Omuvubuka eyawatibwa ng’atembeeya engoye enkadde zonna zisanyiziddwaawo
Joel Kisekka ow’emyaka 20 yagyibwa mu bitundu bye Nakivubo ng’engoye zino gy’azitundira
Alagiddwa era okusasula emiitwaalo 20 oba yeebake e Luzira omwezi.
Mu ngeri yeemu, abatunzi ba orbit bana batanziddwa emitwaalo 10 buli omu.
Kuno kubaddeko Joseph Nyagwe nga bano nno ssinga balmeererwa okusasula bakusula e…
Ba nnabakyaala abawerera ddala 70 bakuba bataka wano okwetaba mu Lukiiko lwaabwe olusoose
Olukiiko luno lutegekeddwa maama Sylivia Nagginda nga lugendereddwaamu kukubaganya birowoozo ku bizibu ebiruma abakyala, mukenenya n’ebikyalemesa abaana bawala okusoma
Akulira ekibiina kya Maama Nabagereka Solome Nakaweesi agamba nti essira bagenda kulisimba ku bakyala abali mu byaalo ng’olukungaana luno lugenda kuggulwaawo president museveni
Bannamateeka abawolereza ba councilor 17 abagaala loodimeeya agyibweemu obwesige basabye akakiiko okukkiriza loodimeeya agyibweemu obwesige nga ba kansala bwebasaba.
Nga bafundikira oludda lwaabwe olwaleero, bano abakulembeddwaamu Kiryoowa Kiwanuka agambye nti akakiiko kaleme kwonoona budde kakkirize ba kansala bagyeeu loodi meeya obwesige kubanga bimulemye
Kiryoowa agambye nti loodimeeya emilimu gyamulema bweyagaana okuyita enkiiko za bonna mu myezi mukaaga
Agasseeko…
Poliisi eyitiddwa bukubirire okukkakkanya abasuubuzi ababadde beekalakaasa.
Obuzibu buvudde ku kwongeza ssente zebawa buli mwezi okuva ku mutwalo gumu kitundu okudda ku mitwalo ebiri kitundu
Abasuubuzi bano babadde batandise okwegugunga nga bagamba nti sente zino nyingi.
Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi mu kadde kano ali mu kwogerako n’abakulembeze b’abasuubuzi mu kawefube w’okulaba nti embeera teddamu…