Amawulire

Omusawo eyagaba omwana wa munne akaligiddwa

Ali Mivule

August 13th, 2013

No comments

Doctor conivicted

Omusawo akola ku byokuzaalisa  awumuziddwa emyaka 2 nga ono alangibwa lwakweyisa mu ngeri etasaana.

Dr Asinja Kapur y’awumuzidwa  nga avunaanibwa gwakukyusa  biwandiiko  by’omwana omulenzi eyali yakazaalibwa ,olwo bananyini mwana n’abawamu omulambo gw’omwana omuwala.

Akakiiko akagatta abasawo  kakasiza  nga Dr. Asinja  bweyakyusakyusa ebiwandiko ,nga bino byebyali biraga nga abafumbo ababiri bwebali bazadde omwana omulenzi wabula yye n’abawa mu omuwala ate nga mufu.

Mu mwaka gwa  2006 omukyala  Sauda Nabakiibi ne bba  Farouk Bukenya, bakeberebwa endaga buttoned munkola ya DNA  nekizulibwa nga omusayi gwabwe  gwali tegukwatagana na mulambo gwomwana omuwala gwebali babawadde.

Akulira akakiiko kano , Dr. Joel Okello agamba nti bakyanonyereza  ,nga bakyalina n’emisango egisoba mu 35 egyikwatagana n’okubuzabuza abaana mu ddwaliro e Mulago.

Wabula yye omwogezi w’eddwaliro lye mulago Enock Kusaasira nga ono yye omwogezi we ddwaliro lye Mulago, agamba nti kituufu doctor ono yaliko omukozi waabwe , naye nga amaze emyaka 2 bukyanga ava mu dwaliro lino, nga ebiseera byeyekoleramu mu dwaliro lino yali akyala muyizi .