Ettendekero ekkulu e Makerere liggulwaawo nga musanvu omwezi ogujja
Kino kituukiddwa mu Lukiiko olwetabiddwaako abakulira akakiiko akatwala ettendekero olw’eggulo lwa leero.
Kino nno kiddiridde abasomesa okutuuka ku kukkaanya okuddamu okukola oluvanyuma lwa ssabiiti namba nga beediimye.
Abasomesa bano kino bakikoze oluvanyuma lw’ettendekero okubongera ku kasente
Wabula abasomesa bano bagamba nti terunaggwa bakusigala nga basaba bongezebwe omusaala
Abakulira Mohammed Kiggundu agamba…
Embeera ekyali ya bunkenke e kasenyi wali e Nalukolongo ng’amayumba 10 geegamaze okusanyizibwaawo,.
Amayembe agagambibwa nti gaagulwa omuntu atannaba kutegerekeka negamusaba abantu 7 era nga yattako babiri bokka.
Gano obwedda agoogerera waggulu era gategeezezza nga bwegetaaga obukadde buna okugenda oluvanyuma lw’okuwa eyagaleeta obugagga.
Akulira abasawo bekinansi mu ggwanga Mama Fiina yasuubizza okuyambako wabula nanenya poliisi okukuba amasasi mu…
Okubalukawo kw’omusujja ogva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever ssikwakosa abayisiraamu abagenda e Makka
Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu Alhajji Nsereko Mutumba agamba nti okwawukanako omwaka oguwedde Uganda bweyagaanibwa okutwala abalamazi olwa Ebola , ku luno babakkiriza okusindika abalamazi
Ono agamba nti omusujja guno ssigwamaanyi era nga tewali nsonag lwaki abantu beeralikirira
Abayisraamu abali mu 1200 beebasuubirwa okulamaga…
Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e kkulu ee Mulago kizzeemu okufa.
Guno gwakusatu ng’ekyuuma kino kifa mu mwezi etaano gyokka
Ekyewunyisa nti ekyuuma kino kyagulwa omwaka oguwedde ku buwumbi 2
Abalwadde 40 beebakolebwaako buli lunaku ku kyuuma ku shs emitwalo 12
Sikaani mu malwaliro amalala yamitwaalo 20 ne 25 era nmg’ekozesebwa ku balwadde abalina obuzibu ku bwongo, mu kifuba…
Gavumenti ya ssabasajja kabaka esabye ababaka mu kabondo ka Buganda okukoma okunenengana
Kino kiddiridde akulira akabondo kano Godfrey Kiwanda n’omumyuka we Betty Nambooze okusika omuguwa ku ndagaano eyatuukibwaako Buganda ne Gavumenti ya wakati
Omwogezi wa Buganda, owek. Denis Walusimbi agamba nti ababiri bano basaanye kwongera kutegeera ndagaano mu kifo ky’okulwaana
Walusimbi agamba nti ababiri bano bakolerera Buganda era…
Omusango gw’okukusa enjaga oguvunaanibwa eyali manager wa Irene Namubiri Hakim Tumwesigye gwngezeddwaayo okutuusa nga lumu ogw’ekkumi.
Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza ng’okunonyereza mu musango guno bwekukyagenda mu maaso.
Hakim nga musuubuzi e Japan kigambibwa okuba nga yeeyatikka Irene Namubiru enjaga nga tamanyi
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa nga 1 ne 5 omwezi ogw’okutaano, Hakim yalagira Namubiru eyali agenda…
Ministry ekola ku by’okuzimba ategeezezza nga kkmapuni ezisinga ezikoa enguudo bwezikola gadibe ngalye .
Minisita akola ku by’enguudo n’emirimu Abraham Byandala ,agamba nti kino kyandiba nga kiva ku budde obuwanvu obutwalibwa omuntu okupatana okukola enguudo olwo kkampuni nezikozesa akakisa kano
Byandala agamba nti enteekateeka eno esaana ekyuke ,kibeere kyangu okusazaamu kkampuni yonna ekola obubi omulimu ogugyiwereddwa
Bino Byandaala…
Gavumenti ekyakukuta n’ensimbi ez’okujjanjaba abantu abalina omusujja oguva ku nkwa nga guno gumanyiddwa nga Congo Crimean Fever.
Minister omubeezi akola ku byobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti bawaddeyo okusaba kwaabwe eri bekikwatako kyokka nga tebannafuna nsimbi zino.
Tumwesigye agamba nti basuubira okufuna ensimbi nga bayita mu mbalirira ey’enjawulo kyokka ng’eno tennayisbwa
Ono wabula agamba nti obulwadde buno basobodde okubwanganga…
Ababaka okuva mu Buganda basabye abavubuka mu Buganda okubeera ab’empisa baanirize buli mugenyi ajja gyebali kubanga ennono bw’egamba
Bino bizze ng’abavubuka kyebajje bangoole omukulembeze w’eggwanga bweyali mu lubiri ku mikolo gy’amatikkira
Ng’ayogerako eri bannamauwlire ku palamenti, akulira akabondo k’ababaka okuva mu bBuganda Godftrey Kiwanda atgeezezza nga buno bwebuli obusiiwufu bw’empisa era nga tekisaanye kuddamu kulabikako
Kiwanda asaye abantu…
Ab’ekibiina kya FDC bagamba nti tebasobola kusimba mabega wa Muntu yenna alina enteekateeka ezireeta enkyukakyuuka ng’ayita mu ntalo
Akulira ekibiina kino Mugisha Muntu agamba nti yadde akimanyi nti gavumenti eno mbi, omuntu yenna okugisigukulula alina kuyita mu mateeka..
Muntu abadde addau bibuuzo ebyekuusa ku wa ekibiina kino wekiyimiridde kuGen David Sejusa n’enteekateeka ze
Muntu agamba nti ekibiina ky’akulira…