Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga basiimye emirimu egikolwa omuddusi afuuse ensonga mu ggwanga Stephen Kiprotich.
Ono yeetabye mu lutuula ng’ababaka basiima omulimu amakula gw’akoze mu kutumbula eggwanga lya Uganda ku mutendera gw’ensi yonna
Ekiteeso ky’okusiima Kiprotich kireeteddwa minister w’ebyemizannyo,, Jessica Alupo nekiwagira omubeezi we Kamanda Bataringaya
Kiprotich yawangula emisinde gy’omutolontoko egy'ensi yonna egyaali mu Moscow Russia.
Ababaka wabula bonna…
Obuzibu bwonna obuli mu KCCa buva ku tteeka
Eno y’endowooza y’omubaka we Mukono Betty Nambooze agamba nti bafunye okwemulugunya okuwerako ku tteeka lino eririmu ebirumira.
Nambooze agambye nti mukyala Musisi etteeka erisoma alizza wuwe olwo loodimeeya n’alabika ng’omukyaamu
N’omubaka owa masekkati ga kampala Mohammed Nsereko abadde alina okulabikako mu kakiiko kano kyokka nga tekisobose olw’emisangoe mirala gy’abadde nagyo…
Omuvubuka eyakuba kitaawe emiggo egyamutta asindikiddwa mu kkomera
Erusania Owori nga mutuuze ku kyaalo Nkombwe mu district ye Buikwe yagwiira kitaawe Erusania Oketch n’amukuba nga kw’ossa n’okumusamba era ebyaddirira kufa
Bano basooka kufuna butakaanya ku nsonga z’ettaka okukkakkana nga balwanaganye
Baali babeera babiri mu nyumba kyokka ng’era berumaluuma nnyo nga ku luno bava ku bya ttaka mpola omuvubuka…
Aba kampala capital city authority bayisizza amateeka amapya eri kkampuni z’amasimu
Kkampuni zino ssizakuddamu kusima makubo kuyisaamu wire okujjako nga bakkirizza okuddabiriza amakubo gebasima
Kino bwekigenda okubeera ne ku miroongooti.
Ebiragiro bino bissiddwaako omukono gw aminister wa kampala. Frank Tumwebaze
KKampuni zino kati okusimba emirontii zakusooka nga kufuna lukusa okuva eri KCCA
Eky’emirongooti kkyo kiliko ne zigenerator eziwogganira abantu ababeera…

Amaggye g’eggwanga ga UPDF gakukozesa gavumenti ya Bungereza okulaba nti Gen David Sejjusa abonerezebwa
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga lt Col Paddy Ankunda agamba nti Gen Sejusa ebigambo by’ayogerera gyaali bissa eggwanga ku bunkenke nga kikyaamu okumuleka ng’abisabula kyeere
Ankunda era agamba nti ssinga palamenti agaana okumwongera oluwummula, bakutandika ku kawefube w’okukola ku nsonga ze

Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga bwewatannabaawo Muntu yenna mupya akwatibwa ekirwadde ekyefananyirizaako Ebola ekyalumba ab’omu district ye Agago.
Ekiwandiiko ekivudde mu ministry eno kiraga nti omuntu alina obulwadde buno akyaali omu ng’ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo
Abantu abalala omukaaga abaali baweebwa ebitanda nao basiibuddwa oluvanyuma lw’okubekebejja okumala ennaku mukaaga nga tebalina kirwadde kino
Katia ba ministry banoonyereza ku bantu…
Stephen Kiprotich azzeemu okuwangula zaabu mu mpaka z'omutolontoko( Marathon)
Ono afuuse ow'ebyafaayo ssi nti kubanga muddusi mulungi kyokka wabula nti ne mu ggwanga akoze ekyafaayo.
Ye muddusi ow'okubiri okuwangula omudaali gwa zaabu ogw'omuddiringanwa nga ku luno addukidde essaawa bbiri n'edaakiika mwenda n'obutikitiki 51.
Omwaka oguwedde, Kiprotich yanazaako Uganda ennaku bweyawangula omudaali gwa zaabue myaka 40 nga Uganda eviiramu…
Ministry ekola ku byobulamu emazze okusindika ekibinja kyabakugu mu district ye Agago nga kino kigenda kunonyerezza ku kirwadde ekyabaluseewo mu district eno .
Bwabadde ayogerako eri banamawulire, DR issa makumbi nga yakola ku ndwade ezigwawo ,atutegeezeza nti omuntu omu akaaksidwa okubeera nekirwadde kino , mukaaga bakyanonyerezebwakko ,songa waliwo nabantu 2 abaafa bebagala okumanya ekyabatta .
Kino ekirwadde…
Abasomesa be makerere nate batabukidde banabyabufuzi, nga bagamba nti bano bebalemesezza okubongezza ku musaala nga bwebasaba .
Muhammed Kiggundu nga yye ssentebe wekibiina kya MUAS ekitaba abasomessa bano , agamba kyebasaba sikinene ,kubanga bbo basaba ebituntu 100% ku nsimbi ezikunganyizibwa mu tendekero lino munda sosi mu govt.
Bw ‘atuuse ku byayogedwa omukulembezee we gwanga, kigundu agambye nti…