Amawulire

Okusima amafuta kutandika mwaka gujja

Ali Mivule

February 6th, 2014

No comments

Uganda yakutandika okufulumya amafuta omwaka ogujja. Kino kiddiridde okutuuka ku nzikiriziganya n’amakampuni agawebwa olukusa okusima amafuta gano ku ngeri gyegagenda okutundibwamu. Wabula minister w’ebyamasanyalaze  Irene Muloni agamba go amafuta amasengejje gakufuluma mu 2017 nga wamaze okuzimbibwa omudumu ogugatambuza.

Aba NRM batuula nkya

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Ababaka mu kibiina kya NRM baddamu olw’enkya okwesogga akafubo ku nsonga z’etteeeka ly’ebisiyaga Ensonga eno y’eri ku mwanjo ng’ababaka basisinkana ekyankwanzi Owmogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti, Everlyn Anite agamba nti wakyaliwo okukubagana empawa ku tteeka ly’ebisiyaga oluvanyuma lwa pulezidenti okwemulugunya ku kuyisibwa kwaalyo […]

Ez’obutale zaabula

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Abakungu okuva mu minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu batunudde ebikalu nga bakunyizibwa ku nsimbi z’obutale mu kampala. Ensimbi ezoogerwaako ziwerera ddala obuwumbi 3 nga zaali zakugula ttaka lya kuzimbako butale e Kalerwe, Kitintale ne Nakulabye Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku gavumenti z’ebitundu, Patrick Mutabwire […]

Abalombe bakyabuze

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Nabuli kati mu gwanga lya south Africa abaduukirize bakyagenda mu maaso nokunoonya abalombe 17 abakyalemedde wansi mukirombe ekya Doornkop  ekyagudemu mu kibuga Johannesburg. Abadukanya ekirombe kino ekya Gold bategeezeza nga bwebawulizza abalombe 8 abakyali mutaka era nga basuubira nti akade kona babatuukako Bano okufuna obuzibu […]

Amasomero gagaddwa

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

E Kasese amasomero 26 gagaddwa lwabutaba na bisanyizo byetaagisa . Akulira eby’enjigiriza mu district eno  Emmy Kayiri agamba nti kino kigendereddwamu kutereeza ntambuza ya mirimu mu masomero gano okuyitimusa omutindo gw’amasomero. Agamba amasomero agasinze okugalwa gasangiddwa nga tegalina basomesa batendeke, eby’obuyonjo nga bikuba enkyukwe nga […]

Ab’amaggye balongoosezza

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Olunaku olwaleero amaggye gakoze bulungi bwansi nga era gatandikidde mu katale kewa kisekka gyebalongoserezza ebifo ebyenjawulo. Bino by’ebimu ku bikujuko ebikulembedemu okukuza olunaku amaggye ga NRM lwegasooka okulumba Barakisi ye Kabamba nga 6 omwezi guno. E Wa Kisekka wabula obwedda emirimu bagikola bafuna okucookozebwa okuva […]

Olusiisira ku masiro luzzeemu

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu abatandise okusuula kasaasiro ku bbugwe w’amasiro nti kakubajutuka. Katikiro agambye nti buli muntu alina okubeera mbega wa munne okulaba ng’obuyonjo bukuumibwa mu masiro ge Kasubi. Katikiro agambye nti omuntu yenna anakwatibwa ng’asuula ebisasiro wamu n’okusalimbira mu masiro […]

Namugongo wa byafaayo

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Kkanisa ya Uganda ebaze ku mulimu gw’okuzimba ekifo awanakuumirwa ebyafaayo ku bajulizi e Namugongo Ekifo kino ekiteberezebwa okuwemmenta obuwumbi 36, kigendereddwaamu kulaba nti ebyo byonna ebikwata ku bajulizi bikuumwa bulungi kubanga bikulu eri abakkriza mu nsi yonna Ssabasumba wa Uganda Stanley Ntagali agambye nti ekifo […]

Sipiika ayogedde ku by’okumutta

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga kyaddaaki avuddemu omwaasi ku bigambibwa nti waliwo abamuwereza obutwa bw’obuwunga mu bbaluwa. Kigambibwa okuba nti waliwo ebbaluwa eyaweerezebwa Kadaga era ng’omuyambi we Herman Kabogozza eyagibikkula yamukosa ng’abadde ajjanjabwa Mu kiwandiiko sipiiika ky’afulumizza kyokka nga kimpi bulala, Kadaga agambye akkirizza […]

Omulamuzi yeeremye ku bya Loodimeeya

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi eby’okujja enta mu musango gwa loodi meeya Erias Lukwago abiganye. Ono era alagidde nti ssabawolereza okusasula ensimbi kooti olw’okugimalira obudde mu kwemulugunya kweyakola. Nga ayita mu munamateeka we Martin Mwangushya, ssabawolereza wa gavumenti nga 15 January yasaba omulamuzi ono […]