Amawulire

Amasomero gagaddwa

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

children in lass

E Kasese amasomero 26 gagaddwa lwabutaba na bisanyizo byetaagisa .

Akulira eby’enjigiriza mu district eno  Emmy Kayiri agamba nti kino kigendereddwamu kutereeza ntambuza ya mirimu mu masomero gano okuyitimusa omutindo gw’amasomero.

Agamba amasomero agasinze okugalwa gasangiddwa nga tegalina basomesa batendeke, eby’obuyonjo nga bikuba enkyukwe nga ate byo ebizimbe ebisinga bibadde bikutte mu mbinabina.