Amawulire

Olusiisira ku masiro luzzeemu

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Katikkiro meets zziwa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu abatandise okusuula kasaasiro ku bbugwe w’amasiro nti kakubajutuka.

Katikiro agambye nti buli muntu alina okubeera mbega wa munne okulaba ng’obuyonjo bukuumibwa mu masiro ge Kasubi.

Katikiro agambye nti omuntu yenna anakwatibwa ng’asuula ebisasiro wamu n’okusalimbira mu masiro ge Kasubi wakutwalibwa mu mu mbuga z’amateeka babitebye.

Zzo ensimbi ezisoba mu bukadde 50 zezisondeddwa olunaku olwaleero mu Bulange e Mengo.