Amawulire

Omulamuzi yeeremye ku bya Loodimeeya

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Lukwago on yasin

Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi eby’okujja enta mu musango gwa loodi meeya Erias Lukwago abiganye.

Ono era alagidde nti ssabawolereza okusasula ensimbi kooti olw’okugimalira obudde mu kwemulugunya kweyakola.

Nga ayita mu munamateeka we Martin Mwangushya, ssabawolereza wa gavumenti nga 15 January yasaba omulamuzi ono omusango guno agudde ebbali, kubanga yandibaamu kyekubiira okuva bwekiri nti yeyayisa ekiwandiiko kya kooti ekyazza Erias Lukwago ku bwa loodi meeya oluvanyuma lwa bakansala okumunaabira mu maaso.

Bw’abadde awa ensala ye ku nsonga eno omulamuzi Nyanzi ategezezza nga ssabawoleza bwataamuwa nsonga yonna ematiza lwaki ava mu musango guno.

Ono era ategezezza nga eneeyisa ya ssabawoleraza bw’eswaza bukyanga musango guno gutandika kuwulirwa.

Mu musango guno Loodi Meeya Erias Lukwago akyalwana kulaba ng’adda mu ofiisi y’obwa loodi Meeya ng’awakanya ekya bakansala okumusindikiriza.