Amawulire

Aba NRM batuula nkya

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Bahati

Ababaka mu kibiina kya NRM baddamu olw’enkya okwesogga akafubo ku nsonga z’etteeeka ly’ebisiyaga

Ensonga eno y’eri ku mwanjo ng’ababaka basisinkana ekyankwanzi

Owmogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti, Everlyn Anite agamba nti wakyaliwo okukubagana empawa ku tteeka ly’ebisiyaga oluvanyuma lwa pulezidenti okwemulugunya ku kuyisibwa kwaalyo

Omwezi oguwedde, Pulezidenti yawandiikira spiika Kadaga ng’amutegeeza ng’okuyisa etteeka lino bwekwakolebwa mu kupapa.

Gwo omusango gw’ebisiyaga oguvunaanibwa Chris Mubiru gwongezeddwaawo okutuusa nga 13 omwezi guno

Kiddiridde aba gavumenti okutegeeza omulamuzi Olive Kazarwe nga bwebaliko webatuuse ku kunonyereza ku nsonga ze.

Ono avunaanibwa kusiyaga bavubuka