Amawulire
Poliisi yegaanye okukwata Mumbere- Besigye ayogedde
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye avuddemu omwaasi ku butabanguko obuli mu disitulikiti ye Bundibuggyo ne Kasese. Agamba nti obuzibu bwonna buvudde kukuyingiza byabufuzi mu bitundu n’okwagaala okukutula mu mawanga. Ng’ayogerako eri bannamawulire ,Besigye agambye nti ekitundu kye Rwenzori kirimu entalo nyingi […]
Maama n’abaana amasanyalaze gabasse
Maama n’abaana be 2 bakubiddwa amasanyalaze agabatiddewo. Omutawaana guno gugudde ku kyalo Bumutale mu disitulikiti ye Sironko nga era abatuuze beebagudde ku emirambo gyaabwe nga bakulu ba jjo. Bano amasanyalaze gabakubye oluvanyuma lw’okukoona ku ssengenge abadde akozesebwa okubbirira amasanyalaze nga bagayisa mu muti. Omu […]
Gyiweze Emyaka 4 Bukyanga Bomu Zitta Bannakampala
Olunaku olwaleero gyiweze emyaka 4 bukyanga batujju ba Al-shabab batega bomu wali ku Kyaddondo Rugby Grounds ne Ethiopian Village e Kabalagala ne batta abawagizi b’omupiira abasoba mu 70.Bano baali balaba fayinolo y’ekikopo kyensi yonna wakati w’eggwanga lya Netherlands ne Spain. Kuluno poliisi eyongedde okulabula […]
Gavumenti efulumizza ekiwandiiko ku Bundibuggyo- lyandiba eddogo
Gavumenti kyaddaaki efulumizza ekiwandiiko ku bulumbaganyi obwabadde e Bundibuggyo , Kasese ne Ntoroko nga buno bwalese abantu abasoba mu 100 nga bafu. Ng’asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti, minisita w’eby’okwerinda, Dr Crispus Kiyonga agambye nti tebannakakasa kituufu kyavuddeko bulumbaganyi buno kyokka nga bakola kyonna ekisoboka […]
Lwakataka akwatiddwa
Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka akwatiddwa. Lwakataka bamukwatidde ku Industrial areamu kampala olw’eggulo lwa leero. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Lwakataka agenda kuggulwaako misango gyakulumya bantu n’okwetaba mu kusuubula obwenyanja obuto. Wakuvunaanibwa mu kkooti ye Kasese gyeyaddiza emisango gino
Omulambo gubbiddwa mu ntaana
Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku ngeri omulambo gyegwabuzeemu okuva mu ntaana Bino bibadde ku kyaalo Mubango Mityana ng’eno gyebaziika omukyala kyokka bagenze okukebera mu ntaana nga tabangamu. Aduumira poliisi ye Mityana Henry Kintu agamba nti bakakasizza nti omulambo teguliimu kyokka nga nabo basobeddwa eka […]
Bannanyini masomero baddukidde mu palamenti
Ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini beekubidde enduulu eri sipiika wa palamenti nga beemulugunya ku misolo egyabassibwaako mu mbalirira y’omwaka guno. Nga bakulembeddwaamu Ssentebe waabwe John Bosco Mujumba , bano bategeezezza ng’omusolo guno bwegugenda okwongera okubanyigiriza n’abazadde ate ng’era guzza emabega ebyenjigiriza Yye omu ku bannanyini […]
Eyatomera bba n’amutta bamulumirizza
Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw’ekikomera. Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi […]
Ogwa Chris Mubiru guli mu nkukutu
Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali akulira tiimu ya SC Villa Chris Mubiru kutandise kyokka nga kuli mu nkukutu. Omulamuzi aguli mu mitambo, Lilian Buchana alagidde bannamawulire n’abantu ba bulijjo okufuluma kkooti ng’omusango guno gutandise Mubiru avunaanibwa kusiyaga bavubuka ekitundu ekimenya amateeka ga Uganda. Oludda oluwaabi lugamba […]
Abe Bundibuggyo bakuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye
Abantu 112 abaakwatibwa ku bye Bundibuggyo bakuggulwaako misango gya kulya mu nsi yaabwe olukwe Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bano kwekuli katikkiro w’obusinga bwa Rwenzururu ne ba minisita abalala babiri N’ayogerako eri bannamawulire, Enanga agambye nti abantu bano bonna bagenda kuvunaanibwa mu […]