Amawulire
Abayizi e Mbarara batikkiddwa
Abayizi abasoba mu 950 beebatikkiddwa ku ttendekero kya techonoligya e Mbarara Bano baweereddwa diguli ne sipulooma mu masomo agatali gamu Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutikkira abayizi, minisita akola ku byenjigiriza Jessica Alupo nti abayizi abatikkiddwa bagenda kuyamba okuzibikira ebituli mu kisaawe kya tekinologiya ekitaliimu bantu […]
Ab’amaggye balongoosezza
Abajaasi mu maggye g’eggwanga olwaleero balongoosezza eddwlairo ekkulu e Mulago ng’egimu ku mikolo gy’okukuza olunaku lwa Tarehe Sita Olunaku luno olubaawo buli nga 6 omwezi ogw’okubiri lukuzibwa okujjukira olunaku abaali abayekeera ba NRA lwebalumba enkambi y’amaggye ge Kabamba. Eggye ly’eggwanga era liwerezza ne ba yingiya […]
Ebya P.7 bifulumye- ebigezo by’abayizi 1,424 bikwatiddwa
Ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu bifulumiziddwa. Abayizi abalenzi basinze abawala okukola obulungi ate nga lyo essomo ly’ebyafaayo( SST) lyeryasinze okukolebwa obulungi Kuno kuzzeeko okubala(Maths) nekuddako Sayansi ate nga lyo essomo ly’oluzungu likoleddwa bubi Ezimu ku disitulikiti ezikoze obulungi kuliko, Wakiso, Kampala, Mbarara , Mukono n’endala ate nga […]
Kalungi gumusse mu vvi
Eyali muganzi w’omubaka Cerina Nebanda nga ye Adam Suleiman Kalungi omusango gumusse mu vvi. Omulamuzi wa kooti ento e Makindye agambye nti Kalungi yalwaawo okuddusa Nabenda mu ddwaliro ekyamuviira okufa. Abalala abasingisiddwa omusango gwekuli omusajja ategerekese nga Ali Umar ng’ono yye ogumusinze gwakusangibwa na biragalalagala. […]
Ebya P7 bifuluma olwaleero
Ebyava mu bigezo b’ekibiina ekyomusanvu eby’omwaka oguwedde bifuluma olwaleero. Ekitongole kya UNEB kyakufulumya ebigezo byabayizi 581,586 wali ku statistics house mu kampala. Omwogezi wa UNEB Hamis Kaheru agamba amangu ddala nga byakafuluma, abazadde n’abaana bakubifunira ku bubaka bw’amasimu.
Enju egiteekedde omuliro
Omusajja asowaganye ne mukyala we amuggalidde mu nyumba ne muwala we n’oluvanyuma n’agikumako omuliro Christine Nalwoga ne Dorothy Nabweteme abe Luweero beebasumattuse omuliro guno kyokka nga bali mu mbeera mbi. Omukyala ono Nalwoga agamba nti bba yakomyeewo ewaka nga bulijjo n’amuwa ekyeggulo era nebeebaka Kyamuweddeko […]
Amaka gakubwa mu lwaatu
Amaggye mu ggwnaga lya Syria gatandise okwokya amayumba g’abantu mu bugenderevu Ab’ekibiina ekirondoola eddembe ly’abantu ekya Human Rights watch kyekitegeezezza bino Ebifananyi ebifulumiziddwa ekibiina kino biraga bbomu nga zikubwa ku maka g’abantu nga n’abamu badduka ekibambulira Kino kyakolebwa mu bibuga Damascus ne Hama nga bino […]
Ensimbi endala ziyisiddwa ku ndaga muntu
Enteeka nteeka y’okufunira bannayuganda endaga Muntu ziyite ID eyongeddwaamu ensimbi. Kiddiridde olukiiko lwa ba minista oluyisaawo embalirira ya buwumbi 138 ez’okukola ku nteekateeka eno Minista akola ku nsonga zamawulire, Rose Namayanja agamba nti basooka kubala ensimbi nga tezimala nga basazeewo nti bajja kwetaagayo ensimbi endala […]
Omwana alina emitwe ebiri
Abatuuze ku kyaalo Kitabu Mu gombolola ye Kyalahumba mu disitulikiti ye Kasese baguddemu ekyekango omukyala bw’azadde omwanang’alina emitwe ebiri. Ekikulekule kino kizaaliddwa omukyala ategerekeseko erya mukyala Kighina wali ku Ddwaliro lya St. Francis of Assisi health center ku kyaalo Kitabu. Omwana ono afudde amangu ddala […]
Uganda ssi yakuva South Sudan
Gavumenti yakuno ssi yakupondoka olw’okusindikirizibwa okujja amaggye munda mu ggwanga lya South Sudan okutuusa nga embeera edidde ddala mu nteeko. Minista w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Rose Namayanja agamba nti obutabanguko bukyali munda mu ggwanga eryo, amaggye teri kusegula kigere kubanga galiyo kukuuma mirembe. Minista okwogera bino […]