Amawulire

America asattidde ku batujju

Ali Mivule

September 13th, 2014

No comments

terrorists

Eggwanga lya America lirabudde abantu baayo abali mu Uganda obutava waka

Bano bayise ku mukutu gwa Twitter nebategeeza nga bwewaliwo kyebekengedde ku batujju kyokka nga tebatudde

America era esabye abantu baayo abatali waka okuddukira mu bifo ebikkakkamu okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna

Mu kusooka era ab’ekitebe kya America mu Uganda bategeezezza nga abakuumaddembe mu Uanda bwebaliko ebikwekweto byebakola ku nfo z’abatujju

Tugezezzaako okwogera n’abatwala poliisi ekola ku nsonag z’obutujju kyokka nga kawefube waffe agudde butaka

Okulabula ku batujju ate kubadde kusiriseemu kyokka ng’abakambwe bano bbo beewera nti bakulumba nebwebunaaba ddi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *