Amawulire

Basajjabalaba wakusasula Kanyeihamba

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Kanyeihamba thrown out

Naggagga Hassan Basajja Balaba alagiddwa okusasula obukadde 124 eri omulamuzi George Wilson Kanyeihamba

Kanyeihamba yawaaba Basajja Balaba lwakumugoba ku bwa ssenkulu bw’ettendekero lye erya Kampala International University mu bukyaamu.

Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Yasin Nyanzi oluvanyuma lwa Kanyeihamba okuleeta obujulizi obulaga nti yagoba mu bukyaamu

Omulamuzi agambye nti Basajjabalaba alina okusasula olw’okuswaza Kanyeihamba, kubanga bannamawulire bawandiika nnyo ku nsonga eno.

Kanyeihamba yalondebwa nga senkulu wa KIU mu mwaka gwa 2008 n’agobwa mu mwaka gwa 2011.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *