Amawulire

Lufula y’e Lyantonde egaddwa

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

 

 

ABBATOIR

E Lyantonde abali b’enyama bakonkomaliridde ku midaala oluvanyuma lwa lufula enkulu okugalwa lwa bukyaafu.

 Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Suleiman Tuguragara y’alagidde lufula eno eggalwe lwa  abakinjaaji kwemulugunya entakera ku zi kabuyinjo ezitalina mazzi n’obukyaafu obususse.

Bano wiiki ewedde  abakinjaaji bediima okusala ensolo yonna lwabukyafu mu bwakifo kino.

Abakinjaaji nga bakulembeddwamu Wahabu Matovu baategeeza nga bwebasasula ssente z’empooza enyinji naye nga mpaawo nkulakulana eriwo nga bayinza n’okulwala endwadde nga ekiddukano n’endala eziva ku bukyafu.