Amawulire

Kaweesi ayatulidde ba mafia abali mu poliisi

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Kaweesi 2

Eky’abakulu mu poliisi okwekobaana n’abazzi b’emisango okunyagulula abantu tekakyaali kaama.

Abadde aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti waliwo ba Mafia mu poliisi ng’amakanda bagasimba wabweeru wa CPS nebanyagulula abantu abeetaga obuyambi

Kaweesi agamba nti abafere bano bakolagana n’abakulu mu poliisi

Kaweesi era mu ngeri yeemu akuutidde amuddidde mu bigere Haruna Isabirye okwongera okukolagana n’abantu mu kulwanyisa obuzzi bw’emisango

Bino Kaweesi abyogedde awaayo entebe ye eri omuduumizi wa poliisi mu kampala omuggya, Haruna Isabirye

Kaweesi yakuzibwa nga kati y’aduumira ebikwekweto bya poliisi byonna mu ggwanga

Abasubuuzi basanyukidde enkyukakyuka ezikoleddwa mu bukulembeze bwa poliisi mu

Ssentebe w’abasubuuzi b’omukatale ke wakisekka  Robert Kisembo  agamba nti Kaweesi wakubayamba nnyo naddala mu kifo kye ekipya ekyokuduumira ebikwekweto bya poliisi okwetoloola eggwanga lyonna naddala ku nsonga z’akatale kano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *